Bya Lawrence Kitatta
BW’OBA tonnaba kujjuza kakonge ka Gabula Ssekukkulu kwefunira ku byassava ebikulindiridde ku mulundi guno, weenenyanga wekka.
Kyokka nkusaba enkya obukeereze nkokola kuba ku 1,000/- lwokka ogenda kufuna ebyassava bya Ssekukkulu ebikulema okwetikka.
Anti ku birabo eby’okuwangula kuliko enkota y’ettooke bwaguuga, enkoko ezitowa kkiro ezisoba mu bbiri n’ekitundu, omuceere kkiro ttaano, ennyama, butto n’ebirala bingi ddala.
Abawanguzi bakyagenda mu maaso n’okusomebwa ku Bukedde TV era nga ne ku Lwokusatu eggulo, akalulu kaakwatiddwa era abawanguzi kkumi okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo beegasse ku balala abazze balondebwa mu nkola yeemu.
Eggulo, Tonny Kimbugwe kitunzi wa Ugachick ne Qaise Raza Hamani ow’omuceere gwa SWT abamu ku batadde ebirungo mu Gabula Ssekukkulu Olusaniya w’omwaka guno be baakutte akalulu ku Bukedde Ttivvi mu pulogulaamu ya ‘Ekyenkya’ era bannamukisa kkumi ne bawangula.
Abaawangudde baavudde mu bitundu okuli; Malaba, Mityana Busoga, Kasaka, Kiboga n’awalala. Abawanguzi bonna baakufuna ebintu byabwe ebya Ssekukkulu nga December 22, 2023.
Bano wammanga be bawanguzi abaalondeddwa eggulo:
0706537478
BUSUNJU 0750757267
Okuwangula ng’oyita mu lupapula lwa Bukedde, ogula olupapula n’okebera ku muko ogwokubiri n’ojjuza akakonge akaliko ebikukwatako okuli erinnya lyo, ennamba y’essimu ne gy’obeera. Akakonge kayuzeemu okawe atunda amawulire gaffe oba okaleete ku Bukedde mu Industrial Area awatuukirwa abagenyi.
Omuwuliriza wa leediyo olina kwekuumira ku Mbuutikizi nga Kiwalabye bwe yakoze.
Ate omulabi wa Bukedde Tv, gwe w’olabira ekitereke kya Ssekukkulu ku lutimbe lwo ng’okubirawo essimu oyogere kimu nti “Gabula Ssekukkulu gye njagala”.
Ng’owangudde. Gabula Ssekukkulu Olusaniya awagiddwa Ugachick, kkampuni y’omuceere gwa SWT ne Royal Milk