Abawanguzi ba Gabula ssekukkulu wa Bukedde bakwasiddwa ebirabo byabwe

ABAWANGULA ebirabo mu kazannyo ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’ bibakwasiddwa ebirabo ne basagambiza.

Abawanguzi nga basanyukira eby'assava byabwe
NewVision Reporter
@NewVision

Bya PATRICK KIBIRANGO

ABAWANGULA ebirabo mu kazannyo ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’ bibakwasiddwa ebirabo ne basagambiza.

Ebirabo byabwe baabifunidde ku kitebe kya Vision mu Industrial area ng’omukolo gw’okubibakwasa gwakoliddwa omukung’aanya w’olupapula lwa Bukedde Micheal Mukasa Ssebowa ng’ali wamu n’abavujjirizi.

Abantu nga basanyukira ebirabo byabye

Abantu nga basanyukira ebirabo byabye

Paul Kimuli Nsubuga ow’e Masaka Lyantonde atunda ebizigo ne Jackie Namanda ow’e Muyenga atunda ebibala be bakwasiddwa Tuk Tuk ekika kya Zongshen okuva mu ba Dura Motors mu Ndeeba.

James Lubega ow’e Kawanda -Wakiso omuvuzi wa ttulaaka ne Samuel Minsavu ow’e Nateete mu katale be baakwasiddwa pikipiki ekika kya Senk okuva mu Dura Motors mu Ndeeba.

Namanda yategeezezza nti azze yeetaba mu kujjuza akakonge okuva wekatandiikira era nga bwajjuza yabweeretera ku Bukedde okutuusa mukama bwe yazeemu essaala ze n’awangula.

Abawanguzi 100 be bawangudde ebyassava by’ettu lya Ssekukkulu omuli enkoko ya Ugachick kabedwa, ne kalodana w’ebya Ssekukkulu ebirala.

Omukunganya w’olupapula lwa Bukedde Michael Mukasa Ssebowa yasiimye abantu bonna ebeetabye mu kujjuza akakonge omwaka 2024, okwo ssaako abavujjirizi abataddemu ssente. 

Abantu nga bakutte eby'assava byabwe

Abantu nga bakutte eby'assava byabwe

Gilbert Luyondo kitunzi wa Dura Motors mu yalazze essanyu olw’okukolaganira awamu ne Bukedde mu kampeyini eno era nategeeza nti bakugenda mu maaso nga beenyigira mu nteekateeka za Bukedde ez’okuddiza ku bantu.

Agaba Atwibu okuva ku Governors e Mukono woteeri ey’omulembe abawanguzi 5 n’abagalwa babwe gye batwaliddwa yategeezezza nti Governors y’emu ku woteeri omuntu zasanye okuttukako mu Uganda nafuna empereza esingayo era n’akunga abantu okugenda babawagire.

Jame Kiwalabye kitunzi wa Ugachik yanyonyodde nti baludde nga batambula ne Bukedde mu nteekateeka ya Gabula Ssekukkulu era tebejjusa kubanga kyongedde okubatunda nga kkampuni era nategeeza nti bakwongera okwenyigira mu nteekateeka zonna

Ono yayogedde ku mutindo gw’enkoko yabwe gye yagambye nti yakakasibwa ku katale k’ensi yonna n’asaba abantu okujjigula bagirye mu maduuka nga balina mu bipimo eby’enjawulo ate ku miwendo emitono

Login to begin your journey to our premium content