Akalulu ka Gabula Ssekukkulu akasembayo kakwatibwa leero

LEERO, akalulu akasembayo mu kazannyo ka BUKEDDE aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’ lwe kakubwa okufuna abawanguzi abasembayo okuli n’abagenda okuwangula Tuk Tuk.

Suzan Nyakato (ku ddyo) owa Ugachick, Ssebowa ne James Kiwalabye akulira ba kitunzi ba Ugachick.
NewVision Reporter
@NewVision

LEERO, akalulu akasembayo mu kazannyo ka BUKEDDE aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’ lwe kakubwa okufuna abawanguzi abasembayo okuli n’abagenda okuwangula Tuk Tuk.
Abalala baakwewangulira ettu ly’ebyassava bya Ssekukkulu omuli n’enkoko eya Ugachick.
Omukolo gw’okukwata akalulu guli wano ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area era akalulu kano kagenda kuzannyibwa butereevu ku Bukedde TV1.
Michael Mukasa Ssebbowa, omukung’aanya w’Olupapula lwa BUKEDDE yasiimye abantu bonna abeetabye mu kujjuza akakonge kano.
Ng’oggyee-
ko ebyassava ne ppikippiki, abawanguzi abalala 5 baakusuzibwa mu wooteeri ey’omulembe e Mukono eya Governors Hotel era balambuzibwe n’ekibuga Jinja.
Bannamukisa bonna abazze bawangula mu bululu obwasooka, n’abagenda okuwangula leero bonna baakukwasibwa ebirabo byabwe ku Mmande nga December 23, ku kitebe kya Vision Group.
Enteekateeka ya Gabula Ssekukkulu omwaka guno ewagiddwa Dura Motors, abakuleetera ppikipiki ekika kya Senke ne Tuk Tuk Zongshen era abaawaddeyo Tuk Tuk ez’okuwangulwa, Uga Chick abaawaddeyo enkoko kabedwa ey’abawanguzi gye bagenda okufumba ku ssekukkulu, Governors Hotel Ltd e Mukono bano baakusuza abawanguzi bataano n’abaagalwa baabwe ebiro bibiri mu wooteeri eno, ssaako aba Chint Uganda abaawaddeyo Solar power system 20 eri bannamukisa 20

Login to begin your journey to our premium content