Abasomi ba Bukedde bawangudde ebirabo n’ebyassava bya Ssekukkulu mu kazannyo aka Gabula Ssekukkulu Sadida mu kalulu akaakwatiddwa leero mu pulogulaamu Ekyenkya ku Bukedde TV1.
Jackie Namanda ow’e Muyenga ne Paul Nsubuga ow’e Lyantonde be bannamukisa abasitukidde mu Tuk Tuk za Zongeshen okuva mu Dura Motors mu Ndeeba.
Pikiki ebbiri zaawanguddwa Samuel Minsavu ow’e Nateete mu katale ne James Lubega ow’e Kawanda- Wakiso.
Akalulu kaakwatiddwa Micheal Mukasa Ssebbowa omukunga’aanya w’olupapula lwa Bukedde, Bruce Micheal Byaruhang a,avunaayizibwa ku kutunda n’okusaasaanya empapula z’amawulire eza Vision Group, Gilbert Luyondo kitunzi wa Dura Motors, Hurry Mugisha kitunzi wa Chint Uganda, Agaba Atwibu kitunzi wa Governors’ Hotel e Mukono ne Siraje Kizito akola pulogulaamu Ekyenkya.
Bannamukisa 58 be bawangudde ekitereke ky’ebyassava bya ssekukkulu omuli enkoko ya Ugachick ne kalonda yenna omulala mu kalulu akakwatiddwa eggulo.
Bano beegassse ku bannamukisa 42 abaasooka okuwangula mu bululu obuzze bukwatibwa ne baweza omuwendo gwa bawanguzi 100 abagenda okufuna ekikapu ky’ebyassava bya Ssekukkulu.
Abawanguzi abalala 5 bawangudde okugenda ku wooteeri ya Governor’s e Mukono n’abaagalwa baabwe okumala ebiro bibiri okwo saako okulambuzibwa ekibuga Jinja.
Ku bano kuliko; Mark Namutete ow’e Kitututwe -Kira, Ismail Kisitu ow’e Kireka, Dennis Kaddu ow’e Kyanyanya QZ, Leonard Magembe owe Bweyogerere ne Saddam Lubega ow’e Katale Jomayi.
Ssebbowa ategeezezza nti abawanguzi bonna baakukwasibwa ebirabo byabwe ku Mmande nga December 23 ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area evunaanyizibwa ne ku Bukedde.
Ayozaayozezza abawanguzi era n’asiima abavujjirizi baffe okuli aba Dura Motors mu Ndeeba, Governors Hotel e Mukono, Ugachick Poultry Breeders e Magigye ne Chint Uganda.
Agaba Atwibu kitunzi wa Governor’s e Mukono alaze essanyu olw’okutambula ne Bukedde mu nteekateeka y’omwaka guno ey’okuddiza ku bantu era n’agamba nti bamaze okwetegeka okulaba nga baaniriza abawanguzi n’okubayisa mu ngeri esiigayo okuba ennungi.
Kitunzi wa Dura Motors mu Ndeeba, Agaba Atwibu, ayozayozezza abawanguzi era n’akunga abantu okugenda ku kitebe kyabwe mu Ndeeba babawagire kubanga balina ebirungi bingi okuli n’ekika kya Tuk Tuku ez’amasannyalaze ze baakaleeta ku katale.
Asiimye Bukedde olw’okubagatta mu nteekateeka eno nabo ne bafuna omukisa okuddiza ku bakaasitoma baabwe nga bali wamu ne kkampuni ggaggadde.
Hurry Mugisha, kitunzi wa Chint Uganda alambuludde ku nsonga lwaki baasazeewo okwegatta ku Bukedde n’ategeeza nti Bannayuganda babawagidde ebbanga nga kiba kya buvunaanyizibwa okubaddiza era n’asaba abantu okugenda babakyalireko ku ttabi lyabwe ekkulu mu Industrial area ne ku matabi gaabwe amalala gonna mu ggwanga babawe ekisinga.