NNAMUKISA eyawangula ettaka mu bikujjuko by’Olupapula lwa Bukedde okuweza emyaka 30, akwasiddwa ekyapa nga kiri mu mannya ge.
Godfrey Sebunnya Kibirige, omutuuze w’e Ganda mu Wakiso, ng’ali wamu ne mukyalawe be baakwasiddwa ekyapa kyabwe mu kifo kyennyini ettaka we liri e Namayumba ku luguudo lw’e Hoima.
Omukolo gw’okukwasa Ssebunnya ettaka n’ekyapa kyalyo mu mannya ge, gwakuliddwa omukung’aanya wa Bukedde, Michael Mukasa Ssebowa ng’ali wamu ne maneja wa kkampuni y’ettaka eya B-Clara eyawaayo ettaka lino, Joan Natukunda.
Ekyapa kino kiri ku bugazi bwa ffuuti 50 ku 100 nga lisangibwa ku kyalo Nakedde mu ggombolola y’e Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso. Omuwanguzi Sebunya yeebazizza nnyo kkampuni ya B-Clara okubeera abamazima n’okubeera n’omutima omulungi eri abantu era n’abasaba okusigala n’omutima omugabi nga bwe bakoze.
Asabye abantu okwekuumira ku lupapula lwa Bukedde n’agamba nti abatamusoma tebanyi kye basubwa, kubaga ng’oggyeeko okuba nga si lw’asoose okubaako ky’awangula, azze awangula mu nteekateeka ya Gabula Ssekukkulu era mu Bukedde afunyeemu amagezi mangi agookwekulaakulanya era tayinza kumuvaako.
Ssebunya agamba nti ettaka lino lye baamuwadde agenda kuzimbako amaka makunale era buli muntu kw’anaategeerera nti ye yali omuwanguzi wa Bukedde eyawangula ekyapa kya B-Clara era yeebazizza nnyo mukyalawe okumubeerera wo n’okumugumiikiriza kye yagambye nti kye kyamufuula omuwanguzi kubanga bangi baggwaamu amaanyi nga tebakyajjuza kakonge naye ate ye teyaggwaamu maanyi.
Omukunganya w’olupapula lwa Bukedde, Micheal Mukasa Ssebowa, asabye abantu okwongera okusoma olupapula lwa Bukedde era ne yeebaza ne kkampuni ya B-Clara okubeera abaamazima mu byebakola. Yayongeddeko nti olupapula luno olwa Bukedde si lupapula lwa mawulire ku kuwa mawulire ggoka wabula n’okusomesa okusobola okukulaakulanya omutu waabulijjo. Oluvannyuma yeebazizza omuwanguzi okubeera omusomi wa Bukedde omulungi n’okwesiga olupapula lwa Bukedde.
Joan Natukunda okuva mu B-Clara yategeezezza nti baasalawo okulanga ne Bukedde kuba yeesigika eri abantu era abantu balukkiririzaamu nnyo ekibayamba okufuna ba kasitoma era okuva lwe baatandika okulanga ne Bukedde tebaddanga mabega era nabo kwe kusalawo okuddiza abasomi ba Bukedde nga bayita mu kugaba ekyapa eri omuwanguzi.