Abaawangula eza Gabula sekukkulu banyumiddwa oluwummula ne basiima Bukedde

ABAWANGUZI bannamukisa abaawangula mu kazannyo ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’ okugenda okuwumulako n’abaagalwa baabwe basiimye Bukedde ne Governor’s Hotel e Mukono okubayisa mu gandaalo lye nnaku enkulu ng’ababedde.

Abaawangula eza Gabula sekukkulu banyumiddwa oluwummula ne basiima Bukedde
NewVision Reporter
@NewVision

ABAWANGUZI bannamukisa abaawangula mu kazannyo ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’ okugenda okuwumulako n’abaagalwa baabwe basiimye Bukedde ne Governor’s Hotel e Mukono okubayisa mu gandaalo lye nnaku enkulu ng’ababedde.

Bano okuli Mark Namutete ow’eKitututwe-Kira, Jamil Kisitu ow’e Kireka, Dennis Kaddu ow’e Kanyanya QZ, Leonard Magembe ow’e Bweyogerere ne Sadam Lubega ow’e Katale Jomayi nga bali wamu n’abagalwa babwe.

Abaagala nga banyumirwa obulamu

Abaagala nga banyumirwa obulamu

Baasimbula ku kitebe kya Vision group Olwokuuna nga December 26 ne bakomezebwawo Olwomukaaga nga 28 ze nnaku bbiri nga banyumirwa.

Babadde basuzibwa mu bisenge eby’omutindo ebya Governor’s hotel gye babadde nga balabirirwa n’okulisibwa ng’abedde byonna ku bbiiru ya Bukedde ne Governors.

Era baalambuziddwa ebifo eby’obulambuzi mu kibuga Jinja okwabadde n’okuvugibwa ku lyato ku mugga Nile kwe baamaze essaawa ebbiri nga balya banywa era nga baatuseeko ne ku ‘Source of the Nile’ webeekubisirizza ebifaananyi n’abagalwa babwe wakati mu kunnyumirwa.

Mark Namutete omu ku bawanguzi ku lwa banne yatenderezza Bukedde olwokusubiza ne batuukiriza era n’asiima enteekateeka yonna nga bweyatambudde gye yagambye nti nga batuuse okumalako olumula luno nga tebatoma era nayongera n’akubiriza abantu okusoma Bukedde n’okwettanira buli nteekateeka eretebwa kubanga biba byaddala.

ssaawa ya kimere

ssaawa ya kimere

Kitunzi wa Governor’s hotel e Mukono, Agaba Atwibu yategeezezza nti yeebazizza Bukedde olw’omukisa gwe yabawadde okukwatagana nabo okuddizza ku bantu.

Yakubirizza abantu okwettanira woteeri yabwe babawe empereza zabwe ennungi okuli ebisulu ebisingayo okubeera ku mutindo , massage, giimu, sauna, emmere empoomu n’ebira are ku miwendo emitono.

Ends

Login to begin your journey to our premium content