Abawanguzi bannamukisa 5 abaawangula mu kazannyo ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu Sadida, okugenda ku wooteeri ya Governors e Mukono n’abaagalwa baabwe okumala ebiro bibiri batuuse bulungi ku wooteeri eno gye baabalabiridde n’abaagalwa baabwe nga abalangira.
Wooteeri ya Governors e Mukono bw'efaanana.
Ku bano kuliko; Mark Namutete ow’e Kitututwe -Kira, Ismail Kisitu ow’e Kireka, Dennis Kaddu ow’e Kyanyanya QZ, Leonard Magembe ow’e Bweyogerere ne Sadam Lubega ow’e Katale Jomayi wamu n'abaagalwa baabwe buli omu.
Abawanguzi nga batuuka ku wooteeri.
Ku wooteeri eno baayaniriziddwa kitunzi waayo Agaba Atwibu ng'ali wamu n’abakozi abalala. Olwatuuse buli omu ne bamutwala mu kisenge mw’agenda okusula n'omwagalwa we nga biyooyooteddwa obulungi.
Abamu ku bawanguzi nga beeriisa.
Bano bagenda kunyumirwa ebintu eby'enjawulo ku woteeri eno ate enkya Bukudde ne Governors n’agenda kubavuga babatwale e Jinja okulambula ebifo eby’enjawulo.
Ekimu ku bisenge ebiyooyooteddwa obulungi omwasuze abawanguzi.