Amawulire

Ffamire za Bannayuganda abali mu ddwaaniro e Ukraine baddukidde wa NabbanjaAbantu

FFAMIRE za Bannayuganda abaatwalibwa mu lutalo lwa Ukraine baddukidde wa Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja abayambe, Gavumenti ya Russia ezze abantu baabwe.

Aba ffamire z’abantu abagambibwa okutwalibwa mu lutalo e Ukraine nga bali mu lukiiko eggulo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

FFAMIRE za Bannayuganda abaatwalibwa mu lutalo lwa Ukraine baddukidde wa Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja abayambe, Gavumenti ya Russia ezze abantu baabwe.
Mu bbaluwa Bukedde gye yalabyeko eyawandiikiddwa ku Mmande nga March 30, 2026, abeng’anda z’abantu bano baagala Gavumenti ekole ekisoboka okulaba ng’abantu baabwe abali mu ddwaaniro mu Ukraine bakomezebwawo mu bwangu.
“Tukuwandiikidde okukutegeeza nti abeng’anda zaffe basendebwasendebwa ne batwalibwa e Russia nga baabasuubiza emirimu n’emisala emisava, ne bakomekkereza nga bayingiziddwa mu ggye lya Russia eri mu ddwaaniro e Ukraine nga bino byaliwo omwaka oguwedde.’’
Kyokka oluvannyuma baakizuula nga kye bajje batuuke nti, bali mu buzibu oluvannyuma lw’okutwalibwa mu nkambi y’amagye ga Russia ne balagirwa okuteeka emikono ku ndagaano ze bateesiimidde. Era baasindikibwa mu kutendekebwa kw’amagye okumala wiiki bbiri zokka nga tebannasindikibwa mu ddwaaniro e Ukraine.
Mu kiseera kino, abantu baffe bangi bafiiridde mu lutalo ate abalala tetukyabawuliza nga n’abamu baggalirwa mu makomera ag’enjawulo.
Okuva mu January w’omwaka oguwedde, tuzze twekubira enduulu ku kitebe kya minisitule z’ensonga z’ebweru w’eggwanga ne ku kitebe kya Russia kyokka tetufunanga kuddibwamu kwonna.
Okuva mu December w’omwaka oguwedde, abantu baffe abaayingizibwa amagye ga Russia tetuddangamu kubalabako. Twasemba okubawuliza nga batutegeeza nga bwe bali mu mbeera embi nga tebafuna bujjanjabi ssaako emmeere nga n’abamu bayita mu kusoberwaolw’embeera y’olutalo.
Tuwanjagira maama Nabbanja okutuyamba, abantu baffe abali mu kusoberwa basobole okukomezebwawo wano.
Ne ffamire zaabwe ze baaleka kuno ziyita mu kusoomoozebwa okw’amaanyi nga zeetaaga okuyambibwako mu by’endabirira, ffiizi, ssente z’obupangisa n’ebyetaago ebirala,” bwe batyo bwe baawanjaze.

Tags: