Amawulire

Alaajanidde RDC w'e Kira okumutaasa ku booluganda abaagala okutwalako ettaka

Mulongo agamba nti bba ye John Muwanga era ettaka erifuuse ndibassa taata wa Muwanga (bba) ye yalimuwa nga lino lya kibanja ekiwezaako yiika 3, nga kuno yamuweerako n'ekiwandiiko ekimukwasa obwannannyini!

Alaajanidde RDC w'e Kira okumutaasa ku booluganda abaagala okutwalako ettaka
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Omukyala Carol Babirye gwe bamanyi nga Mulongo, abeera e Kireka mu Namugongo Division, bba gwe yateresa ekyapa oluvannyuma lw'okwekengera abaffamire ye okumutundako ettaka kitaawe lye yamuwa, kati aliira ku nsiko oluvannyuma   lw'abantu abagambibwa okuba nti batumwa abaffamire ya bba okumukubira amasimu n'ekigendererwa eky'okumuwamba.

Mulongo agamba nti bba ye John Muwanga era ettaka erifuuse ndibassa taata wa Muwanga (bba) ye yalimuwa nga lino lya kibanja ekiwezaako yiika 3, nga kuno yamuweerako n'ekiwandiiko ekimukwasa obwannannyini!

Muwanga oluvannyuma lw'okwekengera abaffamire ye okuba nti baagala kukimubbako, yakwata ebiwandiiko by'ettaka n'abiteresa mukyala we Babirye.

Babirye agamba nti bba Muwanga yafuna obuzibu bw'obulwadde bw'omutwe , atera okucancalana obwongo. Agamba nti wiiki ewedde, yafuna essimu nga bamuyita e Kireka ku poliisi nga bamugamba nti alinayo emisango ku by'okukolagana n'ababbi ba bbooda bbooda, era n'agendayo, kyokka bwe yatuukayo, yasangayo mulamu we gwe bayita Charles Makubage eyamugamba amuwe ekyapa ekikaayanirwa, ensonga ne bazikaayaniramu ne batuuka ne poliisi e Kira gye bamugguliddeko omusango gw'okubba ekyapa ku fayiro nnamba SD REF: 57/25/03/2026.  Mulongo agamba nti bano beekobanye ng'abooluganda kuba ku fayiro y'omusango balaga nti bba Muwanga eyawa Mulongo ekyapa akimuterekere nga mukazi we ate gwe baakozesezza nga yawaaba.

Mulongo Babirye

Mulongo Babirye

Babirye agamba nti ekyapa akirina takyegaana era teyakibba bubbi, wabula bba ye yakimuwa akitereke kuba abooluganda baagala kukozesa lukujjukujju okutunda ettaka nga beeyambisa embeera eriwo nti bba 'waya' zivaako, ekintu ky'agamba nti tagenda kukiganya kubaawo.

Babirye yayongeddeko nti kati baatundako ekitundu ku ttaka lino ng'awalala awasigadde kuliko emizigo gye era kalunsambulira ava ku kuba nti aba Minisitule y'ebyenguudo baasazeewo okumuliyirira obukadde 160 kuba bba ow'ekibanja n'owettaka bbo baabaliyirira ssente kyokka ye ennyumba ye eriko emizigo 4  egyayonoobebwa mu kufaziya oluguudo  lwa Kira - Kasangati - Matugga tebaamuwa , nabigobako era biri mu ggiya,  nga kino ekya ssente kye kisinze okutabula abooluganda ate  nga si be bannannyini ttaka kwenazimba.

Mulongo Babirye yayongeddeko nti kati afuna amasimu ag'enjawulo agamutiisatiisa okumutta, abalala nga bamutumira ababaka abenjawulo okumutiisatiisa okuwaayo ekyapa n'okulayira nga bw'atajja kukomba ku munwe gw'obukadde 160.

"Omusango nagwongeddeyo mu ofiisi ya RDC e kira era enkya ku Lwokubiri tulina olukiiko n'abaffamire naye nnina okutya kwamaanyi olw'ebiyinza okuntuusibwako gamba nga; okumpamba era ndabise okusindikayo looya wange ankiikirire, " Babirye bwe yategeezezza.

Ennyumba za Mulongo ezifuuse nnattabula

Ennyumba za Mulongo ezifuuse nnattabula

Mulongo yeebuuza ebibuuzo bino wammanga;

1. Omwami wange eyanteresa ekyapa, ate lwaki si y'ankubira okukinsaba?
2. Baze bwe yali ampa ekyapa twali babiri mpozzi ne mukwano gwe, kyokka kati abaffamire be bakinsaba! Lwaki???
3. Omwami wange tannawona, yangamba nkimuwe ng'awonye bulungi era n'ankuutira obutakiwa muntu yenna.

4.  Ekyapa ssinneegaana nti sikirina, nze nkirina kyokka banzigulako musango gwa bubbi!
5. Essente z'ennyumba yange ez'ekkubo ze beewera nti sijja kuzifuna ze zireeseewo bino byonna?
6. Obulamu bwange buli mu Matugga, ntambulira mu kutya!!

Tags: