Amawulire

Abatuuze bakoonye amaka ga munnaabwe gwe balumiriza okubaloga

Bino bibadde ku kyalo Nsengwe mu muluka gw'e Bugonzi mu ggombolola y'e Kitenga e Mubende, bwe bakoonye ennyumba y'omukyala Allen Aribisha nga bamulumiriza okutta bannaabwe bataano ng'abaloga.

Abatuuze bakoonye amaka ga munnaabwe gwe balumiriza okubaloga
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

Abatuuze bavudde mu mbeera ne balumba amaka g'omutuuze agambibwa okubaloga ne bagakoona n'okwonoona ebirime  wamu n'ebintu bye ebirala.

Bino bibadde ku kyalo Nsengwe mu muluka gw'e Bugonzi mu ggombolola y'e Kitenga e Mubende, bwe bakoonye ennyumba y'omukyala Allen Aribisha nga bamulumiriza okutta bannaabwe bataano ng'abaloga.

Basoose kusaawa birime enkeera ne bakomawo ne bakoona ennyumba era nga mu kiseera kino ab’ennyumba ye, bakuumirwa ku poliisi y’omu Kyenda ng'okunoonya abakoze kino, bwe kukolebwa.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti okwemulugunya kw'abatuuze kwatandika emyaka 8 egiyise nga bamulumiriza obulogo era poliisi n'ebakkakkanya.

Tags:
Amawulire
Batuuze
Kuloga
Kukoona
Maka
Kukuba