Amawulire

Minisita yasomye bajeti enkakali

MINISITA w’ebyensimbi ayanjulidde Palamenti Bajeti empya ya buwumbi 84,200 bw’ataddemu emisolo emipya n’okwongezza emikadde ku bintu eby’enjawulo omuli n’ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.

Minisitaomubeezi ow’ebyensimbi, Henry Musasizi, ng’ayanjula Bajeti mu Palamenti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITA w’ebyensimbi ayanjulidde Palamenti Bajeti empya ya buwumbi 84,200 bw’ataddemu emisolo emipya n’okwongezza emikadde ku bintu eby’enjawulo omuli n’ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo. 
Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Henry Musasizi ye yayanjudde Bajeti mu lutuula lwa Palamenti olwakubiriziddwa Sipiika Anita Among oluvannyuma eyagiweerezza mu kakiiko ka bajeti, ababaka okutandika kugyekenneenya, esobole okuyisibwa nga Palamenti eno eri mu kisanja kyayo ekisembayo tennasattululwa nga April 24 2026.
Bajeti empya erinnye okuva ku buwumbu 72,200 ey’omwaka 2025/26 nga minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija gye buvuddeko yategeeza nti, okulinnya kivudde ku kusima amafuta g’eggwanga okugenda okutandika era kusuubirwa okuvaamu obuwumbi obusukka 1,000 gattako n’emisolo emipya.
Bwe yabadde ayanjula Bajeti empya, Minisita Musasizi yaleeteddeko amateeka mukaaga omusengekeddwa emisolo ku bintu eby’enjawulo Gavumenti mw’eruubirira kukung’aanya omusolo gwa buwumbi 44,500 egigenda kukung’aanyizibwa ekitongole ky’emisolo ekya URA. Era emisolo gino gigenda kulinnya beeyi y’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo naddala amafuta, ebizimbisibwa n’ebirala.
BBEEYI Y’EBINTU YAKULINNYA
Gavumenti eriko emisolo emipya gye yalinnyisizza kisobozese ekitongole ekiwooza   ’omusolo ekya URA okukung’aanya obuwumbi obusoba mu mitwalo 44 obwabalagiddwa.
Emisolo emipya gijja kutandika okuwoozebwa mu July wa 2026. Emisolo giteekeddwan ku bintu ebiwerako okuli ebizimbisibwa nga seminti, langi, omwenge, butto, ssente ezipangisa abayimbi ne bannakatemba, beetingi n’okuwera emmotoka enkadde okuyingira mu ggwanga.
EBIZIMBISIBWA
Ebizimbisibwa nga seminti, adhesives, grout, white cement ne lime buli kasawo ka kkiro 50 kateereddwako omusolo gwa sh. 1000.
Langi eva ebweru w’eggwanga ne vanisi bigenda kuteekebwako omusolo gwa bitundu 10 ku 100 oba 2,000/- buli liita oba kkiro okusinziira ku kisinza omuwendo.
Langi ekolebwa mu ggwanga eteereddwaako omusolo gwa bitundu 3 ku 100 oba sh. 50 ku buli liita oba kkiro okusinziira ku kisinza omuwendo.
AMAFUTA
Liita y’amafuta ga Petrol n’eya diesel buli omu eteereddwaako sh.200. Kisangiddwa nga buli liita ya Petrol Gavumenti egiggyak sh.1550, ate eya diesel bagiggyako sh 1230.
BUTTO
Butto eyeeyambisibwa mu kufumba ateereddwako omusolo gwa sh 400 buli liita. Omusolo gwa sh.500 bagutadde ku muzigo ogweyambisibwa okufumba.
OMWENGE
Gavumenti yatadde omusolo gwa sh 3,500 ku mwenge ogugwa mu kiti kya walagi (spirits) egiva ebweru w’eggwanga.
EMMOTOKA EZISUKKA EMYAKA 13 ZIWEREDDWA
Etteeka erifuga ebidduka ku nguudo erya Traffic and Road Safety Act, lyakoleddwaamu ennongoosereza ne bawera okuddamu okuyingiza mu ggwanga emmotoka ezisussa emyaka 13 okuva lwe zaakolebwa. Kyokka kino tekikwata ku mmotoka ezisangiddwa nga ziri mu kkubo ng’etteeka terinnatandika kukola mu July n’endala zonna ezinaatuuka mu ggwanga obutasukka December 31, 2026.
Motor spirit (gasoline) ateereddwako omusolo gwa Ushs1750 buli liita. Gas oil okuli eyeeyambisibwa mu bidduka n’akozesebwa mu yingini ennene buli liita bagitaddeko
sh.1430.
Okuwandiisa emmotoka omulundi ogusooka kwa sh. 500,000.

ABAYIMBI NEBANNAKATEMBA
Abayimbi ne bannakatemba bagenda kutandika okusasulaomusolo gwa withholding tax. Abategesi b’ebivvulu balagiddwa okusookanga okwawula ssente zino ku muwendo gwa ssente gwe baba bapangisizza abayimbi.
BEETINGI
Kkampuni za beetingi ziteereddwaako omusolo gwa bitundu 30 ku 100 ku magoba ge baba bakoze oluvannyuma lw’okwawulako ze baba bataddemu.
WALIWO ABALIDDE
Essira lyateekeddwa ku kukuuma emirembe n’obutebenkevu, okukola enguudo, okubunyisa amasannyalaze, entambula y’eggaali y’omukka, okwetegekera empaka za AFCON 2027, okuliyirira abaakosebwa olutalo e Teso, Lango ne Acholi, okwongera emisaala gy’abasomesa n’abasirikale. Waliwo abantu abafunye obutereevu mu Bajeti ng’abakozi ababadde basasula omusolo gwa Pay as You Earn okutandikira ku Shs235,000. Baagulinnyisizza ng’abagenda okuguwa be bafuna Shs. 335,000 n’okudda waggulu.
Kyokka abasasulwa obukadde 10 n’okudda waggulubagenda kusasula omusolo gwa bitundu 40 ku 100.
Emisaala gy’abasomesa ba Arts gwongezeddwa n’ebitundu 25 ku 100 nga baaweereddwa obuwumbi 554 nga kino kijja kukolebwa okumala emyaka ena. Okwenkana emisaala gya bannaabwe aba Sciences, beetaaga obuwumbi 2,500. Okukola oluguudo lwa Kampala-Jinja Express way, Standard Gauge Railway, olw’eggaali y’omukka (Meter-Gauge Railway), okubunyisa amasannyalaze mu  bifo by’amakolero n’amazzi byonna awamu awamu biweereddwa obuwumbi 1,380.
Abasuubuzi ababadde bakaaba olw’enkola y’okusasula omusolo gwa VAT mu nkola ya EFRIS baalinnyisizza omuwendo gwa ssente kwe balina okutandikira okukozesa enkola eno okuva ku bukadde 150 okutuuka ku bukadde 250. Okwongera amaanyi mu malwaliro amakulu agawa obujjanjabi obw’enjawulo n’okugongeramu eddagala eryetaagisa, biweereddwa obuwumbi 556 n’obukadde 78. Okwetegekera obulungi empaka z’ekikopo kya AFCON ekigenda okuyindira mu
ggwanga kiteereddwaamu obuwumbi 496. Okugula emmotoka z’ababaka ba Palamenti
ey’e 12 kwakumalawo obuwumbi 166 n’obukadde 80. Okudaabiriza n’okulabirira enguudo za KCCA, emyala n’okugirongoosa nabyo biteereddwako obuwumbi 111.
Ebintu ebyetaagisibwa ekitongole ky’ennyonyi ekya Uganda Airlines biteereddwaako
obuwumbi 145. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mafuta mu ggwanga ki UNOC n’ekya Petroleum Authority nabyo byakufuna obuwumbi 205.
Okuliyirira abaafiirwa ente mu bitundu by’obukiikakkono n’obuvanjuba okuli;
Teso, Acholi ne Lango kwakumalawo obuwumbi 1000. Nga Junuary 8, 2025 akulira ekitongole kya URA John Musinguzi yalangirira nga bwe baali bafunye abawi b’omusolo abapya 420,183 nga mu kiseera kino baali bawezezza omugatte gwa 4,881,983. Abawi b’omusolo abapya baasasula obuwumbi 59.01 okuva nga July okutuuka December wa 2024/25.

Tags: