Amawulire

Ab'e Katwe, Ndeeba, Mengo, Rubaga, ne Kibuye baguze emijoozi gy'amazaalibwa kubula kugimalayi

Ennaku esigadde mbale okutuuka ku misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 71. Enteekateeka, ziri mu ggiya ng’abantu bongedde okujjumbira okugula emijoozi okwetaba mu misende gino. 

Ab'e Katwe, Ndeeba, Mengo, Rubaga, ne Kibuye baguze emijoozi gy'amazaalibwa kubula kugimalayi
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Ennaku esigadde mbale okutuuka ku misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 71. Enteekateeka, ziri mu ggiya ng’abantu bongedde okujjumbira okugula emijoozi okwetaba mu misende gino.

 

Emisinde gino egiddukibwa buli mwaka, gigenda kubeerawo ku Ssande, April 12, 2026 mu Lubiri e Mengo. Kabaka yennyini y’asuubirwa okugisimbula.

 

Nga bweri ennono ya kkampuni ya Vision Group, okuyita mu lupapula lwa Bukedde, ne ku mulundi guno bavuddeyo okuwagira enteekateeka eno. Bukedde etandise enteekateeka yaayo ey’okutuusa emijoozi gy’okuddukiramu ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka okwetooloola eggwanga.

 

Olwokuna, ttiimu ya Vision Group, ng’ekulembeddwa amyuka akulira ebivvulu mu kkampuni ya Vision Group, Kennedy Mwota baatandise enteekateeka eno.

 

Baatalaaze ebitundu okwabadde, Katwe, Ndeeba, Mengo, Rubaga, ne Kibuye nga bakunga abantu okweyiwa mu bungi mu Lubiri e Mengo ku lunaku olwo era nga bwe babaguza n’emijoozi.

 

Abamu ku baaguze emijjoozi okwabadde; Jamil Kafeero, Nagujja n’abalala baalaze essanyu era ne bategeeza nga bwe beesunze olunaku lwokka y’ensonga lwaki basazeewo bagule egyabwe mu budde era ne bakunga abalala nabo okukola ky’ekimu.

 

Kabaka yasiima, emisinde gy’omwaka guno gyiddukibwe n’ekigendererwa eky’okujjamu ensimbi z’okuyambako okulwanyisa akawuka ka mukenenya okulaba nga kamalibwawo mu ggwanga we tutuukira omwaka 2030.

 

Okwetaba mu misinde omuntu agula ‘kiiti’ ku 25000/, nga muno mulimu omujoozi gw’okwambala, ensawo n’eccupa y’okuteekamu amazzi eby’okukozesa mu kudduka.

Tags:
Katwe
Mengo
RUbaga
Ndeeba
Mazaalibwa
Mijoozi