Amawulire

Abantu bongedde okujjumbira okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazalibwa ga Kabaka.

ENTEEKATEEKA z’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, ag’emyaka 71, zikyagenda mu maaso.

Abantu bongedde okujjumbira okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazalibwa ga Kabaka.
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

ENTEEKATEEKA z’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, ag’emyaka 71, zikyagenda mu maaso.

Abamu ku bantu abaaguze emijoozi gya Kabaka

Abamu ku bantu abaaguze emijoozi gya Kabaka

Abakozi ba Bukedde bakyagenda mu maaso n’okutalaaga ebitundu eby’enjawulo nga bakunga n’okuguza abantu emijoozi gy’okwetaba mu misinde ku 25,000/- zokka.

 

Emisinde gya Kabaka egy’omwaka guno gigenda kuddukibwa ku mulamwa gw’okumalawo akawuka ka mukenenya omwaka 2030 we gunaatuukira nga gyakubeerawo Ssande ejja nga April 12, 2026, mu Lubiri e Mengo nga Ssaabasajja Kabaka yennyini y’agenda okugisimbula.

 

Mu mbeera eno, kkampani ya Vision Group n’Olupapula lwa Bukedde beewaayo okulaba nga bakulemberamu omulimu gw’okutunda emijoozi gy’amazalibwa.

Aba crown Japan Katwe nabo bajjumbidde okugula emijoozi gino

Aba crown Japan Katwe nabo bajjumbidde okugula emijoozi gino

Ababadde baakulembedwamu Kennedy Mwota amyuka akulira ebivvulu mu Vision Group batalaaze ebifo okwabadde Mulungu, Nakasero, Kafumbe Mukasa n’awalala nga batunda emijoozi

 

Mu bamu ku baaguze kwabadde; aba Crown Japan Katwe, Mabeela Electronics ku Energy Center, M &A Curtain Collection ku Amponye Mall, Elle's fashion store ku Top City Plaza, Chaina- Town Viskiii ku Kisenyi Bus Terminal, Aba Rest assured property investment ku Taitanic plaza, Mulongo Shoe Center, ku Swift Plaza n’abalala.

Omukyala ng'agula omujoozi gw'amazaalibwa ga Kabaka.

Omukyala ng'agula omujoozi gw'amazaalibwa ga Kabaka.

Mu balala abaaguze ye muzeeyi James Mukwaya eyasangiddwa e Mulungu, ono yategeezezza nti wadde takyalinamu maanyi gadduka naye buli mwaka agula omujoozi okuwagira era n’akunga abantu okugula emijoozi gino bawagire omulanga gwa bbaffe.

 

Keneddy Mwoto amyuka akulira ebivvulu mu kkampuni ya Vision Group eno ekyagenda mu maaso ng’omuntu ayagala okumutuusiza emijoozi , yagambye nti enteekateeka ng’agula mu bungi asobola okukuba ku 0754386063 okugimutusaako oba okujja ku kitebe kya Vision Group mu industrial area mu Kampala ku 25,000/- zokka

Tags:
Kabaka
Mazaalibwa
Abantu
Mijoozi
Misinde
Kujjumbira