Ffamire 70 ku kizinga Bussi ziraajana olw'envubu okubattira abantu baabwe

ABATUUZE b'oku kizinga Bussi mu disitulikiti ye Wakiso beeraliikirivu olw’envubu ezitandise okutta abavubi n'abantu abasaabalira ku nnyanja.

Ffamire 70 ku kizinga Bussi ziraajana olw'envubu okubattira abantu baabwe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATUUZE b'oku kizinga Bussi mu disitulikiti ye Wakiso beeraliikirivu olw’envubu ezitandise okutta abavubi n'abantu abasaabalira ku nnyanja.

Abakulembeze okwabadde ssentebe w’eggombolola, Charles Mukalazi bannyonyodde nga ffamire ezisoba 70 ku myalo egy’enjawulo egiri ku bizinga okuli; Kavenyanja, Zzinga, Kava ne Kituufu, bwe zifiiriddwa abantu baabwe ekivuddeko bannamwandu okukaluubirirwa okulabirira abaana be babalekera.

Mukalazi yategeezezza nti embeera eno evuddeko obwavu okweyongera ku mwalo olw’abavubi okutya okugenda ku nnyanja ate nga gwe mulimu mwe baggya ssente ezibabeezaawo.

Yannyonnyodde n'engeri envubu gye zizze zitta abantu omuli okukuba n'okutomera amaato gaabwe ne gagwa mu nnyanja olwo ne zibakkakkanako ne zibaluma obufiififi, n'abamu ne zibakweka mu bitoogo nga zimaze okubalyako ebitundu by'omubiri.

Emu ku ffamire ezisinze okukosebwa ya nnamwandu Janet Nanfuka eyategeezezza Bukedde ng’envubu bwe yamuttira bba Amos Zinunula omwaka oguwedde bwe yali agenze okuvuba ku mwalo gwe Mabuye. “Baze yakeera kugenda kuvuba naye ku mulundi ogwo yalwayo nnyo ku nnyanja.

Bwe twagenda okumunoonya twasanga eryato lyevuunise mu nnyanja nga n’omuntu tetumulaba. Banne baatandika okumuyigga. Baagwa ku mulambo gwe ng'envubu emukwese mu kitoogo. Yali emulumyerumye yenna,” Nanfuka bwe yagambye.

Yagambye nti yamulekera abaana munaana. Olw’embeera, abamu yawalirizibwa okubaggya mu ssomero olw’ebbula ly’ensimbi. Asaba abazirakisa okumudduukirira.
Ate ye Lauben Kafeero, ssentebe w’ekyalo Bwaise ku kizinga kino, yagambye nti envubu yamuttira muganda we Joseph Lubandi n’emulesa omwana Daniel Kawuki. Yategeezezza nga naye bwe yamusanga ku nnyanja ng’avuba n’etomera eryato n’agwa mu nnyanja olwo n’emulyako ebimu ku bitundu bye eby’omubiri.

“Muganda wange yandekera omwana ono nga muto nnyo era kati nze ntoba naye okuviira ddala ku by’okusoma n’ebirala. Tuzze twekubira enduulu eri aba Uganda Wildlife Authority okuggya envubu mu mazzi naye baalemererwa. Baatugaana okuzitta ate ng’omulimu gwe tutunuulidde ku kizinga kino gwe gw’okuvuba. Kati abasinga tetukyasobola kulinnya mu nnyanja olw’ensisi gye tulina," Kafeero bwe yagambye.

Sulaiman Ssenkubuge Musoke, kkansala akiikirira Bussi ku disitulikiti e Wakiso yannyonnyodde nga bwe baludde n’ekizibu ky’envubu okutta abantu nga kati giweze emyaka etaano nga tebayambibwa. Yayongeddeko nga bwe bazze batuukirira ab’ekitongole ekya Wildlife Authority kyokka ne bakuutirwa obuteetantala kutta nvubu zino.

“Tuli bennyamivu nnyo eri ab’ekitongole kino kubanga tebafuddeeyo kutuyamba, ebbanga lyonna batugamba nti envubu ezo zirina okubeera mu mazzi era nti ffe tuzirumbagana. Kyokka zisinga kubeera ku myalo okujudde abantu, zitandise n’okuva mu mazzi ne zirya emmere y’abantu.

Envubu zigobye abantu ku myalo era kino kitaataaganyizza ennyingiza y’emisolo ku disitulikiti kubanga abantu batya okuvuba.

Emabega bajja ne batusuubiza okuliyirira ffamire z’abantu abazze battibwa envubu era buli bye baatusaba twabibawa naye kati tebeenyeenya,” Kkansala bwe yagambye.

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Wildlife Authority, Bashir Hangi yategeezezza ng’envubu bwe zirina eddembe okubeera mu mazzi era n’asaba abavubi okwewala okutuuka mu bifo we zeekweka. Yasabye ffamire z’abaasuubizibwa okuliyirirwa okugumiikiriza.