Bino byabadde Lubaga ku mukolo Abakristu b'ekigo kya Sacred heart Lubaga kwe baayanirizza omwana waabwe Paapa gwe yalonda okubeera Omusumba w'Essaza lya Aliwal mu ggwanga lya South Africa n'okumukulisa okutuuka ku kitiibwa kino.
Fr. Mayanja ng'afukamidde
Fr. Mayanja bwe yabadde akwasa maama Christine Nsubuga ekirabo yasazeewo okufukamira wansi ng'amusiima olw'okubazaalira Omusumba n'okumugunjula mu mpisa ennungi.
Ekikolwa kya Fr.Mayanja kyacamudde abagenyi ku mukolo abaabadde baakikwata nti abantu ba bulijjo be balina okufukaamirira bannadiini.