Eyawangudde ak'e Senegal olukung'aana yalukubye ebula ennaku 11 balonde!!!

Ebikwata ku Pulezidenti wa Senegal omupya ow'abakyala ababiri

Eyawangudde ak'e Senegal olukung'aana yalukubye ebula ennaku 11 balonde!!!
NewVision Reporter
@NewVision
#Senegal #Bassirou Diomaye Faye #Kalulu #Kulonda #Bukulembeze #Dakar # Senegal

Dakar, Senegal

PULEZIDENTI wa Senegal omulonde, musaayimuto Bassirou Diomaye Faye azze n'ebyewuunyo nga takoma ku kulondebwa ku kifo kino ku myaka emito ennyo (44), wabula aliko ebyewuunyisa nfofoolo by'osaanye okumanya bye tukuleetedde mu mboozi eno.

Newankubadde ebivudde mu kalulu ku Ssande byabadde tebinnalangirirwa, ebivaayo biraga nti Faye ow'oludda oluvuganya abadde akyatwalaganya Amadou Ba eyeesimbyewo ku kkaadi y'ekibiina ekiri mu buyinza era abadde Katikkiro, ku bululu obusukka mu bitundu 54 ku buli 100.

Faye (ku Kkono) Ne Sonko Eyamuleese.

Faye (ku Kkono) Ne Sonko Eyamuleese.

Obwakabalwako busukka mu bitundu 90 ku 100, ekitegeeza nti tewakyaliwo mukisa gukyusa muwanguzi.

Abadde amuvuganya Amadou Ba ne Pulezidenti Macky Sall ali mu buyinza kati baamaze dda okumwozaayoza olw'okutuuka ku buwanguzi era ne bakkiriza nti abawangudde n'enkoona n'enywa ng'alindiridde kulayizibwa nga April 2, 2024 afuuke Pulezidenti wa Senegal owookutaano.

Ebyewuunyisa  14 ku pulezidenti omulonde Faye n’ebimukwatako

-Faye yazaalibwa nga March 25, 1980 e Ndiaganiao mu ttundutundu ly'omu Bugwanjuba bwa Senegal erya M’Bour, Thies.

-Yali Ssaabawandiisi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekyasattulukuka ekya PASTEF, (Patriotes africains du Sénégal pour le travail, l’éthique et la fraternité), ekyali kyatandika mu 2014 nga kikulemberwa munnabyabufuzi omugundiivu Ousmane Sonko.

-Mu 2000, Faye yatikkirwa ddiguli eyookubiri mu mateeka ku myaka 20 gyokka.

Bakyala  Ba Faye Ababiri B'alina.

Bakyala Ba Faye Ababiri B'alina.

-Oluvannyuma lw'okutikkirwa, yafuuka omulondoozi w'ebyemisolo (tax inspector) gye yasisinkana Sonko, eyasomera mu ttendekero lye limu naye gye yasomera.

-Enkolagana ya Faye ne Sonko yeeyongera 2014, okutuusa nga bakoze ekibiina kya PASTEF (ekibiina ekivuganya ekibadde kisinga obunene e Senegal kyokka ne basalawo okukisattulula.

Wabula mu November wa 2023 Sonko amanyiddwa ennyo era alina obuwagizi obw'amaanyi  yasimbyewo Faye nga kandideeti we n'amusimba mu mugongo n'abawagizi be bonna.

-Faye yamaze emyezi 11 mu kkomera oluvannyuma lw'ekiwandiiko kazaalabulwa kye yateeka ku mukutu gwe ogwa Facebook Gavumenti eriko kye yalaba nga kigirengezza n'emukwata era yayimbuddwa nga wasigaddeyo ennaku 10 akalulu kakubwe.

-Oluvannyuma lwa Sonko okumulangirira nga gw'asimbyewo nga March 15, 2024, nga waakayita olunaku lumu ng'ayimbuddwa, Faye yakubye olukung'aana olwasombodde ebubiga n'ebibuga, enkumi n'enkumi z'abantu ne zijja okumuwa obuwagizi .

Faye Eyaakalondebwa Ng'ayogera.

Faye Eyaakalondebwa Ng'ayogera.

-Ku lunaku lwe lumu, eyaliko Pulezidenti, Abdoulaye Wade n'ekibiina kye ekya Senegalese Democratic Party (PDS) baalangiridde nti basimbye mabega wa Faye ku lunaku lwe lumu, ekintu ekyayongedde amaanyi mu nkambi ye okukkakkana ng'afunye obuwagizi obusinga obunene.

-Mu kkampeyini eyabadde ey'ennaku embale, Faye yasuubizza okutondawo emirimu, n'avumirira enguzi n'asuubiza okwekenneenya kontulaki z'ebyamafuta.

-Faye, Sonko, ne bannaabwe bwe baayimbuddwa okuva mu kkomera ku kiragiro kya Pulezidenti Macky Sall nga March 14, ng'okulonda kubindabinda, Faye yasuubizza n'okulwanyisa obuyinza Bufalansa bw'ekyabalinako newankubadde yabaddiza dda obwetwaze mu 1960.

-Faye musajja Musiraamu ng'alina abakyala babiri okuli Marie Khone ne Absa, nga baakamuzaalira abaana bana 4.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.