Leero mu gya World Cup
Central Africa - Mali (1:00)
Senegal - Togo (3:00)
Lwakubiri (1:00)
Uganda -Guinea, Namboole
Nigeria - Zimbabwe
Cameroon - Libya (2:00)
AMAWANGA ga Afrika kirimaanyi gatuuyana zikala nga gandiremeremwa okukiika mu World Cup y’omwaka ogujja egenda okuyindira mu mawanga 3 okuli, Canada, Amerika ne Mexico.
Nigeria eyaakakiika mu World Cup emirundi 6, yaakuna ku ttiimu 6 mu kibinja C ekikulembeddwa South Africa nga batwalako ekulembedde yokka.
Erina obubonero 6 mu mipiira 5. Wiini emu yokka Nigeria gy’erina yakubye Rwanda (2-0) ku Lwokutaano. Enkya (Lwakubiri) Nigeria omuli, Victor Osimhen, Alex Iwobi, Moses Simon, Wilfred Ndidi n’abalala, ekyaza Zimbabwe ng’erina kuwangula okusigaza
emikisa gya World Cup. Mu gwasooka baalemagana 0-0 e Zimbabwe.
Senegal bagiri bubi; Ttiimu eno y’emu ku zisinga abazannyi abalungi mu Bulaaya, kyokka by’esiba bikutuka. Ekibinja B, Senegal mw’eri, kikulembeddwa Sudan n’eddirirwa DR. Congo nga yo (Senegal) yaakusatu. Senegal, eyaakakiikirira Afrika emirundi 3 mu World Cup, yatuuyanye okulemagana ne Sudan (0-0) ku
Lwokutaano. Abazannyi baayo bonna abali mu liigi za Bulaaya okuli; Sadio Mane, Idrissa Gueye, Ismaila Sarr, Lamine Camara, Kalidou Koulibaly, Pape Gueye, Edouard
Mendy n’abalala baabaddemu.
Enkya, Senegal ekyaza Togo eyookutaano ng’eruubirira kuwangula