ABATUUZE ku byalo munaana abasulirira okusengulwa ku ttaka lyabwe mu ggombolola y’e Mpunge, mu disitulikiti y’e Mukono bagobye abapunta ababadde basindikiddwa okwerula empenda.
Beesombye ne bagumba mu katawuni k’e Sango, ekimu ku byalo ab’ekitongole kya Uganda Land Commision (ULC), ekitongole kikuuma ettaka lya gavumenti, we beesomye okuwa omuyimbi munnansi wa Senegal, Akoni, azimbewo ekibuga ggaggadde.
Ettaka eikaayanirwa
Abatuuze abaabadde batasalikako musale, baategeezezza nti wadde nga baagala enkulaakulana mu kitundu, tebayinza kumala gakkiriza bantu be batamanyi kwerula mpenda ku ttaka lyabwe mu ngeri eya kiyita mu luggya.
Ssentebe w’eggombolola y’e Mpunge, Freda Muwanga Namyalo, yalaze obutali bumativu eri omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Mukono, Fatumah Ndisaba, gw’agamba nti takoze kimala kubatangaaza ku nsonga ya ttaka lyabwe era nga ne bwebaamukubidde essimu ng’abapunta babazinze teyalinnye kigere, mu kitundu kyabwe kubayamba ate ng’akimanyi bulungi nti Pulezidenti Yoweri Museveni, yagaana abagobaganya abatuuze ku ttaka.
Abatuuze ku byalo ebisulirirwa okusendebwa okuli;Buleebi, Sango, Mbazi, Kyazi, Lulagwe, Muvo, Kiziru, ne Kamwanyi bagamba nti wandiba nga waliwo abeekwese mu kisiikirize kya Akon, abaagala okubabbako ettaka lyabwe, ekintu kye batajja kukkiriza.
Bino byonna byaddiridde ebbaluwa aba Uganda Land Commission, gye baabawandiikira nga, June, 20, 2024, nga babalaalika nga bwe bagenda okutandika okwerula empenda ku ttaka lye baagala okuwa Akon, kw’anaazimba ekibuga ggaggadde.
Abatuuze nga bali ku ttaka erikaayanirwa
Arthur Akampa, eyakulembeddemu abapunta yagumizza abatuuze nti tewali agenda kubagoba ku ttaka nti wabula kye baagala kwekumanya ensalo z’ettaka lya gavumenti eriri mu kitundu kyabwe. Abatuuze baakontodde nti nebwawoomereza, si beetegefu kubakkiriza kusaalimbira ku ttaka lyabwe okutuusa nga minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba oba Sam Mayanja, bagenze gye bali nebakkaanya ku nteekateeka za pulojekiti ya Akon.
Abatuuze baatadde emisanvu mu buli luguudo olugenda ku ttaka eririko embeteza nga bwe beewera okulikuuma okutuusa gavumenti lwenevaayo mu bulambulukufu nebaliyirira ku ttaka lyabwe.
Nga July, 01st, 2024, bassentebe be byalo nga bali wamu n’abatuuze baawandiikidde Minisita w’ebyettaka n’amayumba Judith Nabakooba n’omumyuka we Sam Mayanja, nga babasaba bayingire mu nsonga zaabwe awatali kulonzalonza, kyokka n’okutuusa kati tebannabakubako kyamulubaale.
Okunoonyereza kulaga nti ettaka eryogerwaako liri ku Block 555, era nga liweza sikweeya mmayiro nnamba. Kigambibwa nti lyali lya Bwakabaka bwa Buganda, nga lyaweebwa Nnamasole Veronica, kyokka mu mwaka gwa 1929, ne litwalibwa eyali gavana wa Uganda, mu biseera ebyo.
Mu mwaka gwa 1938, ettaka lino lyawandiisibwa mu butongole wansi wa gavumenti era abantu ne batandika okulifunako liizi.
Oluvannyuma lw’okutondawo obukiiko bw’ettaka ku disitulikiti (District Land Board), abantu ab’enjawulo baatandika okusaba ne baweebwa liizi n’ebyapa ku ttaka lino (Freehold titles) ne balifunako obwannannyini, nga n’ab’ebibanja mw’obatwalidde. Aba ffamire ya Mary Ssenkatuuka, bagamba nti nnyaabwe yoomu ku baafuna liizi ku ttaka lino nga ya myaka 49, kyokka bweyaggwaako, baakyuusa ne bafuna ebyapa bya ‘Freehold’ nga kati bebuuza lwako babagobaganya ate nga Pulezidenti Yoweri Museveni, azze akyogera lunye nti teri alina kugobaganya muntu ku ttaka lye wadde ow’ekibanja.
Ettaka lino likoona ku Lake Victoria era nga liriko n’abaggagga ab’amannya abaagulayo