Bannayuganda abaagala omuzannyo gwa Rugby bali mu kucacanca oluvannyuma lw’okutongoza empaka za Rugby Africa Cup 2024 ezigenda okuzannyibwa nga July 18-29 mu mu kisaawe kya Mandela National Stadium e Namboole ekyakaddaabirizibwa.
Uganda yawangula okutegeka empaka zino emyaka ebiri (2024 ne 2025) ng’amawanga musanvu ge gaayitamu okuzannya ez’akamalirizo.
Rugby
Nnampala wa gavumenti, Denis Obua (eyaliko minisita w’emizannyo) ye yakiikiridde minisita aliko kati, Peter Ogwang okutongoza empaka zino ku kisaawe kya King’s Park e Bweyogerere awazannyirwa omuzannyo gwa rugby.
Yabadde n’omulangira David Wasajja ng’ono y’omu ku bayima bw’omuzannyo guno mu ggwanga, pulezidenti wa Uganda Rugby Union (URU), Godwin Kayangwe, omubaka mu palamenti Daniel Kidega n’abakungu ba kkampuni ya Nile Breweries ensaale mu kussa ensimbi mu muzannyo gwa rugby mu ggwanga.
“Twagala okugatta amawanga ga Africa nga tuyitira mu mizannyo era gavumenti ky’eva ezza ssente mu muzannyo guno. Nga gavumenti, tusiima Nile Breweries ensaale mu kussa ssente mu muzannyo guno era n’abalala basaana okulabirako,” Obua bwe yategeezezza.
Pulezidenti wa URU, Kayangwe yagambye nti ekirooto kye kitandise okutuukirira okulaba ng’omuzannyo gwa rugby guyitimuka mu Africa era n’asiima ekibiina ekikulira omuzannyo guno mu nsi yonna ekya World Rugby okugutumbula mu Africa.
Ye akulira omuzannyo guno mu Africa, Herbert Mensah enzaalwa ya Ghana yabadde ku mukutu n’asiima gavumeti ya Uganda okubeera ensaale era emu kw’ezo ettaano ezeesowoddeyo okuteeka ssente obutereevu mu muzannyo gwa rugby.
“Tusiima amawanga agatedde ssente mu rugby. Twagala empaka za 2025 zibeeremu ttiimu 16 mu z’akamalirizo eza rugby 15’s ate eza Rugby 7’s zibeere 12,” Mensah bwe yategeezezza.
Amawanga munaana gwe gagenda okuguvuganyiza mu Kampala mu mpaka ez’akamalirizo mu kikopo kya Rugby Africa Cup 2024 okuli Burkina Faso, Corte Devoir, Kenya, Senegal, Zimbabwe, Namibia ne Uganda abategesi.