Eyaliko omusambi mu Liverpool El Hadji Diouf ali mu Uganda

EYALIKO omusambi mu Liverpool FC era munnansi wa Senegal El Hadji Ousseynou Diouf akuutidde abavubuka abalina ebitone obutaggwamu maanyi kubanga beebalina okulaba nga Africa efuuka ensoga mu mawanga ga nnagwadda.

El Haji Diouf ng'ali mu office ya Speaker
NewVision Reporter
@NewVision

EYALIKO omusambi mu Liverpool FC era munnansi wa Senegal El Hadji Ousseynou Diouf akuutidde abavubuka abalina ebitone obutaggwamu maanyi kubanga beebalina okulaba nga Africa efuuka ensoga mu mawanga ga nnagwadda.

Diouf bino abyogedde bwabadde asisinkanye sipiika wa palamenti Anita Among ku bugenyi bwaliko nga akyalira ttiimu za Uganda ezenjawulo. ono agambye nti ye yakuzibwa jajja we eyali atunda ebinywebwa ku street wabula nga ekitone kye kyamufuula ow’ensonga.

Agambye nti ebitone bituusa naddala omupiira bituusa wangi nga naye yafuula ensi ye ey’ettuttumu kwosa n’okuzza ensimbi gyava n'agamba nti okukulakulanya Africa kutekeddwa kubeera kati nga bannabitone balina okusaako ettofaali.

Sipiika wa palamenti Anita Among agmbye naye yava mu famire nnaku wabula nga y’omu kati kubogerwako abatadde ettofaali ku kuzimba Uganda n'asaba abavubuka okukomya obutekiririzaamu nti tebasobola kubeera nga ye.

 Atendereza pulezidenti Museveni olw’okusa enkizo ku by’emizannyo nazimba ebisaawe eby’omulembe, era nga Uganda yakubeera n’emapka za CHAN omwaka guno kwosa ne AFCON mu 2027