Uganda erinayo omukisa ku World Cup

TTIIMU ya Uganda ey’abali wansi w’emyaka 17 (The Cubs) bw'eba yaakugenda mu World Cup, esigazza ekkubo limu lyokka Oluvannyuma lw'okulemwa okuwangula Zambia lku Ssande, ekyandigitutte obutereevu mu World Cup t'e Qatar, kati The Cubs erina kuwangula mupiira gwa 'play off' ku Lwomukaaga, eyitemu.

Abazannyi ba The Cubs.
NewVision Reporter
@NewVision

Uganda 1-2 Zambia
Morocco 3-0 Tanzania
TTIIMU ya Uganda ey’abali wansi w’emyaka 17 (The Cubs) bw'eba yaakugenda mu World Cup, esigazza ekkubo limu lyokka Oluvannyuma lw'okulemwa okuwangula Zambia lku Ssande, ekyandigitutte obutereevu mu World Cup t'e Qatar, kati The Cubs erina kuwangula mupiira gwa 'play off' ku Lwomukaaga, eyitemu. Yakubiddwa Zambia (2-1)
n'emalira mu kyakusatu mu kibinja A mu AFCON eyindira e Morocco. Yawanduse
mu balwanira ekikopo kino kyokka ng'okubeera mu ttiimu 10 ezinaakiikirira Afrika mu World Cup erina okukwatagana n'owookusatu mu kibinja C.
Eggulo, emipiira gy'ekibinja C lwe gyazannyiddwa nga Tunisia ne Senegal baabadde ku bubonero 4, Gambia (3) ate Somalia (0). Tunisia yattunse ne Gambia ate Senegal n'ezannya Somalia. World Cup ya mu November.