Eyaggya omuwala mu kyalo nga yaaye n'amala n'amufuula mukazi we

OMUVUBUKA eyaleeta omuwala atennetuuka okuva e Rukungiri okukola obwa yaaya agambibwa okumukakkanako ate n'amufuula omukyala, bimukalidde ku mimwa bw'asindikiddwa mu kkooti enkulu okutandika okubitebya

Wycliffe Tumuramye 22
NewVision Reporter
@NewVision
OMUVUBUKA eyaleeta omuwala atennetuuka okuva e Rukungiri okukola obwa yaaya agambibwa okumukakkanako ate n'amufuula omukyala, bimukalidde ku mimwa bw'asindikiddwa mu kkooti enkulu okutandika okubitebya.
 
Wycliffe Tumuramye 22, abeera Kasubi mu Lubaga y'agambibwa okuggya omuwala myaka 17 (amannya gasirikiddwa) okuva mu kyalo n'ekigendererwa ky'okubeera yaaya kyokka olwatuuka mu kazigo ke n'amufumuula omukyala okumufumbira ettooke.
 
Kigambibwa nti Wycliffe yalina mukwano gwe Deus gwe yasinyaako nga bw'ayagala omukozi amuyambe ku mirimu n'amufunira ono.
 
Nga February 28, 2023, omuwala yava ewaabwe n'ayolekera e Kampala okukola era yatuuka buwungeera mu Ppaaka enkadde Tumuramye gye yamukima.
 
Olwali okutuuka awaka, yamuggyako essimu obutaddamu kukubira be waabwe era ekiro ekyo yatandikirawo okumukaka emboozi y'abakulu. 
 
Omuwala kigambibwa yeemulugunya nti omuntu aleeteddwa okukola ate azzibwa atya mu ebyo nga mpaawo ky'awulira (Tumuramye). Kino kyagenda mu maaso enfunda eziwera kwe kubuulirako balirwana.
 
Omuwala era yafuna w'akubira essimu okutegeeza ku Deus muntu naye eyakwata essimu okukubira Wycliffe ng'amubuuza nti yali ayagala mukyala oba mukozi.
 
Tumuramye yamwanukula nti omukozi gwe yamufunira anyirira nnyo ng'asobola n'okugattawo ng'omukyala. 
 
Oluvannyuma balirwana bateegeeza Poliisi eyamutwala mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo gy'abadde avunaanibwa ogw'okukusa omwana okutuusa omulamuzi Adams Byarugaba bw'awadde empapula ezimusindika mu kkooti enkulu gy'aneewolezaako ku gwa naggomola guno.