HOWARD Tusingwire 35, yinginiya ate nga mutuuze w’e Mutundwe Kabaawo zzooni mu Lubaga y’awerennemba n’ogwokujjira omusawo ekiso amufumite kubanga yali agaanyi okumuwa eddagala lye erya ssukaali amutawaanya.
Tusingwire mu kaguli ka kkooti.
Ono yagasimbaganye n’omulamuzi w’eddaala erisooka, Adams Byarugaba mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo amusomedde ogw’okutiisatiisa okutuusa obulabe ku muntu.
Kigambibwa nti nga May 24, 2023 mu Kabaawo, yaggyirayo omusawo Blessing Suzan ekiso n’ekigendererwa eky’okumunyiiza ng’ayagala kumutta.
Oluvannyuma lw’okumusomera, yakkiriza omusango era oludda oluwaabi ne lutegeeza nti ku ssaawa 6:00 ez’omutvtuntu, omusajja ono yajja ng’akaalakaala n’ekiso n’atuukira ku ddwaliro lya Blessing n’amutiisatiisa okumufumita ssinga aba tamuwadde ddagala era abantu abaaliwo be bakung’aana okumutaasa.
Tusingwire yategeezezza nti ddala omusawo abadde amubuzaabuza nga tamuwa ddagala lye lya bulwadde bwa ssukaali ate nga yamusasula naye ne yeekyawa kwe kukwata ekiso amumalirize ng’alowooza abadde amuzannyirako kyokka ye ng’ali mu bulumi.
Wabula yeewakanye eky’okusanga omusawo mu ddwaliro n’agamba nti yamusanga afumba wabweru era kino kkooti yakitutte nti yeegaanyi omusango era n’emusindika ku limanda e Luzira okutuusa nga June 29, 2023 lwe gunaddamu.