Eyagenda ku kyeyo bamukomezzaawo takyategeera ng'omutwe n'olubuto baabisala!

ABOOLUGANDA basobeddwa olw’omuntu waabwe eyagenda e Saudi Arabia okukola, ate bakama be ne bamubasindikira ng’ali mu mbeera mbi.

Eyagenda ku kyeyo bamukomezzaawo takyategeera ng'omutwe n'olubuto baabisala!
By Vivien Nakitende
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kyeyo #Kukola #Kuyiiya #Saudi Arabia #Mukasa Aloysius #Nakawooya Firid #Firida #Busega Nabisasiro #Kibumbiro #Lubaga South

Abooluganda basobeddwa olw’omuntu waabwe eyagenda e Saudi Arabia okukola, ate bakama be ne bamubasindikira ng’ali mu mbeera mbi.

Ono baamusala olubuto n’omutwe ne bategeeza mbu yagwa ne bamulongoosa. Ekisinze okubeewuunyisa ye muganda waabwe okuba nga takyalina ky'ajjukira ku nsi, eby’emabega byonna yabyerabira, tatambula wadde okuyimirira okuggyako nga bamuwaniridde, tayogera na  baana be era tamanyi nti y'abazaala era tabategeera.

Nakawooya Ku Lubuto Kwe Baamulongoosa.

Nakawooya Ku Lubuto Kwe Baamulongoosa.

Ffamire yasabye aboobuyinza  okubayambako bafune obwenkanya. Firidah Nakwooya 30, ye yasalibwa olubuto n’omutwe bwe yali agenze mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola obwayaaya, nga kati talina ky'asobola kwekolera, oluvannyuma lw’okulongoosebwa okutaamanyibwa mayitire.

Shadia Nabulya, mukulu wa Nakawooya nga y'abeera naye mu zzooni ya Nabisasiro e Busega yagambye nti,  mutoowe yali agenze ku kyeyo  okuyiiyiza abaana be ssente ez’okubalabirira naye yakomawo nga n’abaana be yagenda okuyiiyiiza obulamu tabajjukira era tabamanyi.

Kkampuni Gye Balumiriza Okutwala Nakawooya Ku Kyeyo.

Kkampuni Gye Balumiriza Okutwala Nakawooya Ku Kyeyo.

Yayongeddeko nti  Nakawooya yagenda e Saudi Arabia ng’akozesa kkampuni ya Bizaat Labour Consultants LTD ey’e Kansanga, eyamutwala okukola mu 2021. Ono baasigala bamuwuliza okutuusa mu August w’omwaka guno bwe baalaba ng'essimu ye teriiko nga tewali ky'abanyega kwe kukozesa essimu ya mukama we gye yali yabawa.

Ekiwundu Ku Mutwe We Baasala.

Ekiwundu Ku Mutwe We Baasala.

Ono yabategeeza nga Nakawooya bwe yagwa n’akubawo omutwe n’ayisibwa bubi ne bamutwala mu ddwaaliro ne bamulongoosa omutwe n’olubuto ebyali bikoseddwa.

Mu October w’omwaka guno yamubaweereza naye yagenda okutuuka, nga talina ky’ajjukira ku nsi nga naye yennyini teyeetegeera nga teyeemanyi. Tasobola kutambula, kuyimirira wadde okwogera, n’okutuusa leero akyali mu mbeera bw’etyo.

Agamba nti aba kkampuni ya Bizaat Labour Consultants LTD eyamutwala ebweru bwe baabatuukirira ku nsonga eno, ne babatwala mu ddwaliro mbu baamukebera era ne babawa lipooti mbu tewali kitundu kye kyaggyibwamu, olwo bo ne bagenda, nga n’okutuusa kati tewali kye baali babayambyeko.

 

 Omubaka akiikirira Lubaga South mu paalamenti, Aloysius Mukasa atuuseeyo okulaba ku Nakawooya  n’asaba  minisitule y’ensonga z’omunda n’ey’ensonga z’ebweru w’eggwanga eveeyo eyambeko ku nsonga nga zino, Nakawooya afune obwenkanya.

Yannyonnyodde nti bandiba nga baamuggyamu ebitundu bye eby’omunda nga bwe kizze kirabika ku balala, bw’atyo n’asaba be kikwatako okuvaayo okunoonyereza ku nsonga eno.