ABEEBYOKWERINDA e Kalungu bakutte nnannyini bbaala omugambibwa okufiira omudigize.
Eyakwatiddwa ye Vincent Kakeeto nga ye nnannyini bbaala ya Under Cover Guest House and Bar esangibwa mu Master Cell Lukaya Town Council, nga kigambibwa nti we waafiiridde Yasin Kawooya 19.
Kakeeto yakwatiddwa n’abamu ku bakozi b’ekifo kino ne baggalirwa mu kaduukulu.
Omulambo gwa Kawooya gwasangiddwa gusuuliddwa ewaabwe nga kiteeberezebwa nti baamuttidde mu bbaala oluvannyuma omulambo ne bagusuula ewaabwe.
Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Twaha Kasirye yategeezezza nti omulambo gwa Kawooya gwasangiddwa ekiro ku ssaawa nga 7:00 wabweru w’ekifo kino, wabula oluvannyuma ng’obudde bunaatera okukya, waliwo abaaguvuze ku pikipiki ne batuuka ewa nnyina Hadijah Nalubega ne bamukonkona bwe yagguddewo ne bagumusuulira wabweru ne babulawo.
Nalubega yatemezza ku poliisi y’e Lukaya eyakulembeddwaamu agikulira John Abeho eyagenze ne kabangali yaayo n’eggyayo omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Masaka okwekebejjebwa.
Oluvannyuma poliisi yazinzeeko ekifo kya Under Cover n’ekwata nnannyini kyo.
Ssentebe w’ekyalo, Hajji Edirisa Kayemba n’abatuuze beekokkodde engeri etali ntuufu ekifo kino gye kiddukanyizibwamu nga bagamba nti kirimu