Eyabuukira Pulezidenti bamusibye emyezi 15

23 hours ago

OMUVUBUKA eyabuukira Pulezidenti Museveni e Kawempe asindikiddwa mu kkomera e Luzira yeebakeyo emyezi 15 oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango esatun’alaajanira Pulezidenti amusonyiwe kuba teyalina kigendererwa kibi okumulumba.

Baguma (ku mpingu) ng’atwalibwa oluvannyuma lw’okumuwa ekibonerezo.
NewVision Reporter
@NewVision
63 views

OMUVUBUKA eyabuukira Pulezidenti Museveni e Kawempe asindikiddwa mu kkomera e Luzira yeebakeyo emyezi 15 oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango esatu
n’alaajanira Pulezidenti amusonyiwe kuba teyalina kigendererwa kibi okumulumba.
Yoramu Baguma 28, ow’e Katabi m  Wakiso yawotose oluvannyuma lw’omulamuzi akulira kkooti y’e Kawempe etuula e Kanyanya, Roseline Nsenge okumutegeeza ng’ekikolwa ky’okulumba pulezidenti bwe kyatyoboola ekitiibwa kye ng’omukulembez w’eggwanga bwatyo n’amutegeeza nga bw’asazeewo abeere
eky’okulabirako eri abo abasuubira okukozesa amakubo agatali matuufu okusisinkana Pulezidenti.
Baguma eyabadde ayambadde essaati enzirugavu nga maaso kuliko ekifaananyi kya pulezidenti Museveni ng’emabega kuliko ekya Gen. Muhoozi yasoose kusaba mulamuzi Nsenge amusonyiwe era nti aboneredde kuba yali takimanyi nti okulumba Pulezidenti kyali kimenya mateeka. Wakati mu nnyiike Baguma yategeezezza nga bweyali afubye okuwandiikira Pulezidenti amabaluwa alabe engeri gy’amufunira omulimu kuba muwagizi we lukulwe kyokka ebbaluwa nga tezitwalibwayo nga bwe kityo bweyalaba omukisa gw’okumusisinkana e Kawempe kwe kuwaguza amutuukeko kyokka nga takimanyi nti kyali kyakumuviirako okwebaka mu kkomera.
Oludda oluwaabi olwakulembeddwamu Sharon Nambuya lwategeezezza kkooti ng’omusango guno bwe gwazzibwa nga March 11, 2025 Baguma bwe yawaguza
n’abuukira Pulezidenti Museveni bweyali mu bitundu by’e Kawempe Mbogo mu kunoonyeza Faridah Nambi eyali akwatidde NRM bendera obuwagizi mu kulonda
kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North, ekyalimu omugenzi Ssegirinya. Baguma yaggulwako emisango esatu okuli okulumba Pulezidenti
n’ekigendererwa ky’okumunyiiza, okukuba omuserikale Lt. John Sande Natukunda owa SFC ssaako okujeemera ebiragiro okuva mu baserikale abaali ku mirimu gyabwe
emitongole. Emisango gyonna Baguma yagikkirizza

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.