OMUKAZI eyasibisa bba olw’okumugamba okusengukira mu kyalo gye yamuzimbira amaka n’agaana akawang’amudde, omusajja olubadde okuva mu kkomera n’addamu okumutwala mu kkooti ng’ayagala amusasule obukadde 17 olw’ebbanga ly’amaze nga tamulabirira ng’ali e Luzira.
Nansubuga Bw'afaanana.
Omusajja ono abadde ku kibonerezo kya myezi mukaaga. Sylivia Nansubuga y’amazeeko kkooti ebigambo bw’agitegeezezza nti wadde bba Francis Bbosa Kinobe abadde Luzira, abadde tatuukiriza buvunaanyizibwa ku biragiro ebyamuweebwa okumuwanga obukadde 3,160,000/- buli mwezi okulabirira amaka n’abaana.
Omulamuzi wa kkooti y’e Mengo, Ackline Kembabazi yamwanukudde ng’amugamba nti, ekyo tekisoboka olw’okuba nti yakola dda ekibonerezo eky’okusibwa nga takyayinza kusasulira byayita okuggyako okuteesa ebipya.
Bbosa yasabye omulamuzi amuweeyo ekiseera kya myezi etaano ng’akyetegereza embeera olw’okuba abadde mu kkomera talina w’atandikira nga n’obulamu bwakosebwa yeetaaga bujjanjabi.
Omulamuzi yamuwulirizza kyokka n’amutegeeza nti abaana musaayi gwe abeetaaga obuyambi era yamuwadde omwezi gumu n’amulagira okubaako ne ky’aleeta nga July 28, 2025 lw’anaddamu okweyanjula mu kkooti.
Mu September omwaka oguwedde, kkooti y’amaka e Mengo ku fayiro y’omusango 0010/2024, omulamuzi Dorcus Zako yawa ensala nti ababiri bano buli omu alina obuvunaanyizibwa bwa kyenkanyi ku baana era omusajja wa ddembe okubakyalira nga bw’ayagala.
Kinobe Bw'afaanana.
Yalagira nti Kinobe ateekwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga taata okuli okubasasulira fiizi n’entambula, eby’eddwaaliro, ssente ezirabirira awaka akakadde buli mwezi n’ez’obupangisa.
Oluvannyuma lw’ekiragiro kino, Nansubuga yatemaatema engeri bba gy’ateekwa okumuwaamu ssente.
Mu kiwandiiko kye yawa kkooti nga September 30, 2024, kyalaga nti, ku baana basatu, buli omu alina okuweebwa 120,000/- ez’entambula y’essomero, ez’akameeza 1,000,000/-, ez’obupangisa mitwalo 80, ng’omugatte zikola obukadde 3,160,000 buli mwezi.
Bino byonna okutuukawo, Nansubuga yasooka kwekubira nduulu mu kkooti ng’agamba nti omusajja takyamuwa buyambi okuli ez’okubalabirira n’abaana n’ez’obupangisa emitwalo 80.
Kinobe mu kkooti, yategeeza omulamuzi nti tasobola kuddamu kusasula nnyumba ya mitwalo 80 ate ng’alina amaka ku kyalo Bubezi e Mpigi agataliimu muntu nga mw’ayagala okukuliza abaana n’asaba omukazi waakiri abamuwe ye asigale e Kampala.
Nansubuga yamwanukula nti eyo gy’ayagala okubatwala asinzizaayo eddiini y’obuwangwa ky’atayagala baana kukoppa.
Ekiragiro kya kkooti olwalema Kinobe okutuukiriza, omulamuzi n’amusindika e Luzira yeebakeyo emyezi mukaaga.