ASIKAALI agambibwa okugobwa ku mulimu okutte emmundu n’alumba mukama we n’amukuba amasasi agamuttiddewo, n’attiramu n’omukozi abadde agezaako okumutangira. Wabula naye, banne bamukubye amasasi n’afiirawo.
Enjega eno egudde ku kitebe kya kkampuni y’abakuumi eya Ultimate Security Company e Mbuya mu Nakawa, Asikaali Richard Mwaawa, bw’akutte emmundu n’atta Muky. Noella Zella Jjooga abadde amyuka avunaanyizibwa ku mbeera z’abakozi mu kkampuni eyo.
Noella Zella
Akulira ekifo we batereka emmundu, Salez Bwampata bw’avuddeyo okutaasa mukama waabwe naye Muwaana n’amukuba amasasi agamuttiddewo.
Ayongedde okukuba amasasi mu bbanga era abakozi bonna ne babuna emiwabo nga takyatembeka nga buli amusala mu maaso gw’ayagala okukuba amasasi munda mu ggeeti ya ofiisi eno.
Olw’okutya okwongera okutta abantu, waliwo abatuuze abaddukidde ku poliisi y’e Mbuya n’e Jinja Road abasindise abaserikale okugezaako okumukakkanya akulekeraawo awo okukuba amasasi kyokka n’agaana ng’obwedda ayongera kukuba masasi okutuusa lwe baamukubye amasasi agamusse.
Omu ku bakozi, James Kawuma yategeezezza nti Mwaawa abadde abanja bakama be ssente ze oluvannyuma lw’okumugoba ku mulimu era bw’azze n’asalawo okubatta.
Kigambibwa nti emmundu gye yeeyambisizza mu butemu buno waliwo bakuumi banne e Mbuya be yagiggyeeko olwo n’alyoka ayolekera ofiisi z’abaabadde bakama be n’asasira abakozi amasasi.
Omubaka wa Nakawa East mu Palamenti, Yinginiya Ronald Balimwezo ne Meeya Paul Mugambe baatuuseeko mu kifo kino ne bavumirira ettemu lino. Era baasabye abakuumi mu kkampuni z’obwannyini bongerwe ku musaala ko n’okubudabudibwa okusobola okuziyiza ettemu ery’ekika kino.
Omumy-uka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yakakasizza nti abantu basatu be baafudde mu okuli Zella, Bwampata ne Mwaawa eyakubiddwa Poliisi oluvannyuma lw’okutta banne ate n’agaana okwewaayo ng’amaze okukola obutemu buno.