Bya Peter Ssuuna
OMUVUBUKA eyabba ensawo y’amanda n’engatto za Nigiina asingisiddwa omusango gw’obubbi era n’akaligibwa mu kkomera yeebakeyo emyezi 5.
Charles Walakira amanyiddwa nga “Charger” 19 musiizi wa langi era nga mutuuze wa Busega Kibumbiro Zzooni B mu Lubaga y’asimbiddwa mu kkooti ye Nateete Lubaga e Mengo, omulamuzi Amon Mugezi n’amusingisa omusango guno.
Kyazuuliddwa nti nga 14, Februrary 2022 mu Kibumbiro, Walakira yawalampa ekikomera kya Edward Tamale nabbayo ensawo y’amanda ssaako n’engatto ekika kya Nigiina nga bibalirirwamu emitwalo 11.
Walakira omusango yagukkiriza wabula n’ategeeza kkooti nti yakolera Tamale n’agaana okusasula kwe kusalawo agende mu kikomera abbeyo amanda kubanga yali ayagala ssente z’akujjanjaba nnyina eyali omulwadde ate nga talina ssente nga ne gwe yakolera teyamusasula.
Omuwaabi wa Gavumenti yategeezezza nti Walakira akyali muvubuka muto ng’akyasobola okukola naye n’asaba omulamuzi amuwe ekibonerezo ekimugyamu.
Omulamuzi Mugezi yamusalidde emyezi 5 agende mu kkomera eryo libeere ssomo era n’amulaalika nti bwe baliddamu okumuleeta mu kkooti ku misango egy’ekuusa ku bubbi agya ku musiba ekiseera ekisingawo.