OMUKAZI agambibwa okubba omwana ow'ennaku ebbiri okuva ku nnyina nnakawere mu ddwaaliro e Mityana, akwatiddwa poliisi.
Betty Mirembe Kwagala 40 ow'okukyalo Nabigondo mu disitulikiti y'e Kassanda , y'akwatiddwa ku bigambibwa nti yabbye omwana omulenzi ow'ennaku ebbiri okuva ku nnyina Nnaalongo, nga yeefuula amusirisa bwe yabadde akaaba.
Kigambibwa olwamumuwadde, n'agezaako okufuluma okuva mu mateneti era ne bamukwata ne bamuggalira ku poliisi e Mityana era omwana ne bamuddiza nnyina ng'okubuuliriza kukolebwa.
Nnakawere yazadde balongo omuwala n'omulenzi era, omulenzi ,gwe baabadde babbye . Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Racheal Kawala, asabye ba maama okwongera okukuuma abaana nga beewala abantu ababasitulirako.
Wiiki ewedde, abaana babiri ab'emyezi esatu, babbiddwa okuva ku bannyaabwe mu makanisa g'Abalokole okuli eya Life Christian Church e Makerere Kavule n'ekkanisa endala eya Power of Miracle Healing Centre e Mukono.