ABATUUZE ababadde abanyiivu, bakkakkanye ku muvubuka agambibwa okuwamba omwana ow'emyaka esatu ne bamukuba ne bamuleka ng'ataawa.
Kigambibwa nti omuvubuka ono Erisa Asingwire 25 , yawambye omwana ow'emyaka esatu okuva mu maka g'abazadde be e Nabiswera mu muluka gwa Kyangogolo mu ggombolola y'e Nabiswera e Nakasongola n'abakanda ssente obukadde 10.
Kigambibwa nti omwana ono yabadde azannya ne banne mu luggya, omuvubuka n'amulimbalimba okugenda naye amugulire switi kwe kumuwamba n'asaba obukadde kkumi, nti kyokka oluvannyuma lw'omuyiggo, abatuuze bamusingaanye mu nsiko nga yeekukumye ne bamukuba ne bamuleka ng'ataawa.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Tweanamazima ategeezezza nti omwana bamuzudde nga mulamu ate Asingwire n'atwalibwa mu ddwaaliro e Nakasongola okuweebwa obujjanjabi ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.