OMUSAJJA eyeefuula omusawo n’avaako abantu okufa, kkooti emusibye emyaka 2 n’okuliwa obukadde obusoba mu 21 eri gavumenti.
Francis Taulula 27 nga mutuuze w’e Palisa ye yaweereddwa ekibonerezo oluvannyuma lw’okukkiriza emisango gy’okujingiririra ebiwandiiko by’okubeera omusawo n’okufuna layinsisi ey’obusawo ng’akozesa olukujjukuju.
Ono emisango egyo egyabadde giwererera ddala 15,yagikkiririza mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi era olw’ebikolwa bye bino kyaviraako abantu ab’enjawulo okufa nga yeefudde abalongosa.
Emisango gye yakkiriza kuliko egy’okujingirira ebiwandiiko by’obuyigirize, okuwaayo ebiwandiiko ebikyamu wamu n’okubeera n’ekiwandiiko ekiraga nti akkirizibwa okujjanjaba abantu n’okwewandiisa mu kibiina ekitwala abasawo mu bukyamu ng’alagayo ebiwandiiko ebikyamu.
Omulamuzi Kayizzi yamusibye emyaka 2 ne bbanga lya nnaku 15 ku misango egy’okujingirira ate emyaka emirala 2 n’emyezi 6 olw’okuwaayo empapula enkyamu era ng’ebibonerezo bino waakubikolera wamu ate ogw’okubeera ne nnamba ekakasa nti musawo mu bukyamu waakukola ekibonerezo kya mwaka gumu.
Taulula yalagiddwa okuliwa obukadde 21 n’emitwalo 60 eri gavumenti olw’ebbanga ly’emyaka 2 ze yayasulwanga ng’akola okutendekebwa ku ddwaliro lya Hoima oluvannyuma lw’okukola ekibonerezo kye.
Mu bujulizi obulala kiraga nti Taulula ekiseera mwe yeefuulira omusawo yalongoosa abakyala mu ngeri emenya amateeka era nga bano kyabaviirako okufa nga ku bano kwaliko Harriet Atugonza, Scovia Atuhura ne Gladys Pifua.
Kyazuulibwa nti Taulula yalina obuyigirize bwa S.6 bwokka era oluvanyuma lw’okukkiriza omusango guno munnamateeka we yasabye kkooti emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu kubanga alina omwana gw’alabirira ate ne taata we yamulinako obuvunaanyizibwa.
Wabula mu kuwa ekibonerezo kino eri Taulula, Omulamuzi Kayizzi yagambye nti tayinza kuleka musajja ono nga tabonerezeddwa kubanga ekikolwa kye yakola kityoboola omulimu gwa basawo ate yaleka famire za bantu abaafa ng’alongoosa nga bakaba era ekibonerezo kye yamuwadde kyakoze nga ekyokulabirako eri abantu abalala abayinza okweyita abasawo.