Poliisi eweze abantu okutwala ebintu ebimu mu kisaawe mu za CHAN

Poliisi n'abaddukanya omupiira, baliko ebimu ku bintu bye baweze okutwalibwa mu kisaawe olw'okunyweza obutebenkevu mu mpaka za CHAN.

Poliisi eweze abantu okutwala ebintu ebimu mu kisaawe mu za CHAN
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #CHAN #Poliisi #Kuwera #Mpaka #Kutwala

Poliisi n'abaddukanya omupiira, baliko ebimu ku bintu bye baweze okutwalibwa mu kisaawe olw'okunyweza obutebenkevu mu mpaka za CHAN.

Mu bimu ku bigaaniddwa mwe muli vuvuzera, ffirimbi, manvuuli, obukebe omuli ebyokunywa, ebisawo , amacupa n'ebirala.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, ategeezezza nti ebirala mwe muli video cameras, obwambe, ebiso, smoke cannstar ne kalonda omulala.

Annyonnyodde nti bakkaanyizza n'abaddukanya omupiira n'ebisaawe, okulaba ng’ebiragiro bino bissibwa mu nkola nga beetegekera omupiira gw'enkya ku Lwokutaano.