Abazigu bawambye ow'emyaka esatu ne bamubuzaawo mu kifo ekyekusifu

Omwana ono awambiddwa okuva mu maka ga bakadde be e Nabiswera mu muluka gwa Kyangogolo mu ggombolola y'e Nabiswera e Nakasongola.

Abazigu bawambye ow'emyaka esatu ne bamubuzaawo mu kifo ekyekusifu
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Sam Twineamazima #Kuwamba #Kifo #kubuza

Omwana ow'emyaka esatu awambiddwa okuva mu maka ga bakadde be n'atwalibwa mu kifo ekitannamanyika.

Omwana ono awambiddwa okuva mu maka ga bakadde be e Nabiswera mu muluka gwa Kyangogolo mu ggombolola y'e Nabiswera e Nakasongola.

Kigambibwa nti omwana ono yabadde azannya ne banne mu luggya, omuntu atannamanyika n'amulimba okugenda naye okumugulira sswiiti era teyakomyewo.

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Tweanamazima ategeezezza nti omuyiggo gugenda mu maaso.