Ab'ettima basazeeko bbebi omuwere omutwe ekiwuduwudu ne bakisuula mu kitoogo

Ekiwuduwudu ky'omwana ono nga muwala, kisangiddwa mu kitoogo kya Ziribanda mu Lubanja LC1 mu Ggombolola y'e Busimbi e Mityana, era nga tekinnamanyika bimukwatako mu kitundu ekyo.

Ab'ettima basazeeko bbebi omuwere omutwe ekiwuduwudu ne bakisuula mu kitoogo
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kitoogo #Mwanan #Muwala

ABANTU abatannamanyika basazeeko omwana omuwere omutwe, ekiwuduwudu ky'omulambo gwe, ne bakisuula mu kitoogo.

Ekiwuduwudu ky'omwana ono nga muwala, kisangiddwa mu kitoogo kya Ziribanda mu Lubanja LC1 mu Ggombolola y'e Busimbi e Mityana, era nga tekinnamanyika bimukwatako mu kitundu ekyo.

Ekiwuduwudu kino, kibadde bwereere nga tekuli ngoye, era nga kisuubirwa nti baliko ekifo ekirala , gye baamutidde, omulambo ne bagusuula awo.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala , Recheal Kawala, agambye nti, omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mityana era n'asaba oyo yenna ayinza okuba n'amawulire okuzuula abatemu, ategeeze poliisi.