Omwami w’eggombolola ya Kabaka eya Kayunga – Mumyuka mu ssaza ly’e Bugerere Omumbejja Margaret Ssempala Nambi y’akulembeddemu abantu ba Kabaka mu kitundu kino nga bajaguza ameefuga ga Buganda ag’omwaka guno.
Ensonga z’okubba ettaka okutudde embuga ya Kabaka eya Mumyuka zeefuze omukolo era ne basaba gavumenti eyongere abaamu ba Kabaka n’ebintu byabwe obukuumi.
Baatandise na kusaba okwakulembeddwa omusumba omukulu ow’e Namagabi Rev. Dan Ssendagire era nga wano ab’amaddiini ag’enjawulo bawereddwa akazindaalo ne basabira Ssabasajja n’Obwakabaka.
Omusumba Ssendagitre ng'asabira ebiwebwayo
Rev. Ssendagire asabye Katonda avvuunuse Buganda abantu ab’enkwe abagiriira munda nga ebigenge era ne basabira n’ensonga z’ettaka ezigulumba abaami ba Kabaka emitwe olw’ababbi abalyesimbyemu nga bagamba nti Kabaka talinna bwannanyini ku ttaka eryo.
Okusika omuguwa kuli ku mbuga ya Mumyuka emazeewo emyaka n’ebisiibo abantu bwe batandise okugifunako emyapa n’amayumba gameruka buli kadde era nga ensonga omwami wa Kabaka Omumbejja Nambi baatuuka n’okumuloopa mu poliisi nga bagamba nti asaalimbirawo.
Ow’eggombolola Mumyuka Margaret Nambi yebazizza abantu ba Kabaka abajjubidde okutwala oluwalo era nti buli omu eyawayo Katikkiro yamuwerezza satifikeeti.
Omumbejja Nambi agamba nti mu bulungi bwansi bagabye endokwa z’emiti okwongera ku kulongoosa okwaliwo wiiki ewedde.
Omumyuka wa Mugerere ow’okubiri Patrick Mugerwa asabye pulezidenti Museveni akole ku bantu ababuzizza abakulembeze b’ennono emirembe olw’okubatwalako ebintu byabwe.
RDC hajj Moses Ddumba yeyamye okugoberera ensonga z’ettaka lino banoonye ebiwandiiko okutuusa nga obwenkanya bufuniddwa.