OLUTALO lw’obwannannyini ku ttaka wakati wa ffamire n’abakulembeze b’ekkanisa lunyinnyittidde wakati w’ekkanisa ya Kalaki Church of Uganda ne ffamire mu kika kya Basinaadu abasangibwa mu Bugweri ku kyalo Arieta, mu Pallisa Town Council mu disitulikiti y’e Pallisa.
Aba ffamire ya Basinaadu balumiriza ekkanisa okuyisa mu bipimo by’ettaka eryabaweebwa ne bezza yiika 81 zonna. Beemulugunya nti batuuse n’okubalagira babaviire sso ng’ettaka lyabwe lya nsikirano. Ku Lwokubiri, Abeekika kya Basinaadu baakedde ku Kkooti Enkulu e Mbale beekubire enduulu olw’ekkanisa okumalawo ettaka lyabwe.
Baatabuse bwe baategeezeddwa kkooti nti ebiwandiiko ebiraga obujulizi bwe baawaayo tebirabika sso nga n’abawawaabirwa tebalabiseeko. Baatandise okuleekaanira waggulu okulaga obutali bumativu olwa kye baayise okunyigirizibwa bannaddiini.
Bazzeeyo ku kyalo Eriata okusangibwa ettaka lino ne batuuza olukiiko lw’Ekika olwakubiriziddwa abakulira Symon Peter Agerwe ne Erinesiti Alekuni. Alekuni yagambye nti ekkanisa jjajjaabwe yagiwa yiika ttaano mu gy’e 70 kyokka bwe yafa, ne batandika okweyongeza ne batuuka n’okufulumya ekyapa nga kiraga nti balinako yiika 41.
Agerwe yagambye nti balaajanidde abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo kyokka ab’ekkanisa tebabiwulira era baatandise n’okutunda ku ttaka lino okuli n’ebiggya bya bajjajjaabwe.
Omu ku bakulembeze b’ekkanisa eyategeerekeseeko erya Oundo, yawakanyizza ebyogerwa Ekika kya Basinaadu nti ekkanisa yeeyongezezza ettaka era n’ettaka lye beesibako teriri ku lya ffamire yaabwe n’agamba nti kirabika baagala ekkanisa yonna eveewo. Oundo yagasseeko nti ensonga baakuzitwala mu kkooti ebalamule era ekugire Basinaadu olw’effujjo lye bazze bakola ku nnyumba ya Katonda.
Ssentebe wa LC I ey’ekyalo Ariate, John Peter Kamuduko yagambye nti obukulembeze bw’ekyalo yaakabufuna kyokka abaamusooka baagezaako okutuuza abakulembeze b’enjuyi zombi ne balemwa okukkaanya. Yawagidde eky’enjuyi zombi ensonga okuzituusa mu kkooti