Wabaluseewo akassattiro ku ssomero lya Gavumenti erya ST Joseph Kalisizo P/S erisangibwa mu ggombolola ye Lwengo mu disitulikiti ey’elwengo ebizimbe by’essomero lino bwe bigenzeemu enjatika n’ebimu ne bigwamu akasolya ekivudDeko abayizi okubiddukamu.
Kigambibwa nti ebizimbe bino byazimbibwa mu mwaka gwa 1979 n’okutuusa kati abayizi byebasomeramu ekitadde obulamu bwabwe mu katyabaga.
Zo enzigi n’amadirisa enkuyega zaabirya dda ng’abayizi basomera mu mukyangaala nga n’entebe tezimala abayizi batuula mu nfuufu ekivudDeko okutataganya ebyensoma y'abayizi.
Amyuka akulira essomero lino Ereth Namirembe agambye nti olulabye ng’akasolya kekizimbe nga kagudemu kwekufulumya abayizi basomere mu miti kuba n’ekibuyaga esobola okubisuula wansi.

Ebizimbe by'essomero ST Joseph Kalisizo ebiri mu mbeera embeera
Kino kyegatiddwako ne kaabuyonjo y’essomero okuba nga nayo ejjudde ng’eno ekozesebwa kelezia n’essomero nasaba gavumenti ebayambe awamu n’ebbula ly’amazzi eribatuuse mu bulago.
Bo abayizi batulaze obulumi bwe bayitamu omuli omusana okubagwerako nga basomera wabweru.
Omu ku bazadde era nga ye ssentebe weggombolola eno Kizito Lawrence alajjanidde b’ekikwatako okuvaayo babaduukire ng’ekizimba tekinnasamba ddagala.
Ye akulira eby’enjigiriza mu disitulikiti ye Lwengo Joseph Mulumba alaze okutya ku mbeera y’ebizimbe gyebirimu ng’ate essomero lino libadde likoze kinene okukola obulungi mu bigezo by’ekibiina eky’omusanvu bwatyo nasaba gavumenti n’abazira kisa okuvaayo okuliduukirira.
Disitulikiti ye Lwengo erina amasomero ga gavumenti aga pulayimare 130 nagasiniya