Amawulire

Eryato ly'ababadde bagenda okusomesa abantu ku kwetangira obutaggwa mu mazzi lisiraanidde ku nnyanja

Ababadde bagenda okusomesa abantu ku kwetangira okugwa mu nnyanja bakiguddeko eryato bwe lisiraanidde ku nnyanja nga liweddemu amafuta

Eryato ly'ababadde bagenda okusomesa abantu ku kwetangira obutaggwa mu mazzi lisiraanidde ku nnyanja
By: Nkuba Samuel, Journalists @New Vision

Ababadde bagenda okusomesa abantu ku kwetangira okugwa mu nnyanja bakiguddeko eryato bwe lisiraanidde ku nnyanja nga liweddemu amafuta.

(Vidiyo bw'efaanana)

Eryato ekibadde lisaabaza abagenda okusomesa ku kwetangira okugwa mu nnyanja lisiraanidde ku nnyanja Nalubaale oluvannyuma lw’okuggwaamu amafuta.

 

Lino libadde liva ku mwalo gw’e mwenna nga lidda e Kitobo era libaddemu abantu abasukka mu 20.

 

Bano kuliko banamawulire, aba Swim Safe Uganda, Baria’s Association of Uganda, aba Redcross ssaako poliisi y’oku mazzi. Mu kiseera kino bakyakuba masimu okulaba nga bayambibwa.

Tags:
Lyato
Nnyanja
Kuwuga
Kusomesa
Bantu