ABABAKA ba Palamentiab’ekibiina kya NRM bongedde okutalaaga Buganda mu kaweefube w’okusiguukulula abooludda oluvuganya abaatwala ebifo ebingi mu kalulu aka 2021.
Wiikendi ewedde, baabadde Lyatonde gye baalese nga bamufudde kyenvu era ne bawera nti baakufuba okulaba ng’asigala mu langi eyo mu kalulu akajja mu 2026. Eyo minisita w’ebyettaka, Judith Nabakooba gye yasinzidde ku mukolo ogwabadde mu kisaawe ky’e Kalagala n’asaba abantu abalina ebizibu ku nsonga z’ettaka nti babatuukirire bafune okuyambibwa.
Omubaka Enos Asiimwe Kinywamacunda atwala Kabula yategeezezza nga bwe waliwo abantu abaafuna ebyapa ku ttaka lya Gavumenti nga mu kiseera kino bagobanganyizibwa ate nga tebalina we badda n’asaba Pulezidenti Museveni abaleke bafune obwannannyini obwenkalakkalira.
Ssentebe w’ekyalo awaategekeddwa omukolo, Emmanuel Kutesa yategeezezza abakulembeze mu NRM nti wadde balwana okuzza NRM ku ntikko mu Buganda nti naye ebyobulamu n’ebyenjigiriza bikyali bibi n’asaba wabeewo ekikolebwa. Omukolo gwetabiddwaako abakulembeze okwabadde Nziire Kagguta (ssentebe wa NRM
Kiruhura disitulikiti), Minisita Phiona Nyamutooro, Omubaka Muhammad Mayanja Ssentaayi owa Bukoto West n’abalala abaasabye abantu okuwa Pulezidenti Museveni akalulu mu 2026.