Amawulire

Poliisi efulumizza amannya g'abantu Omusanvu, abaafiridde mu lyato

Poliisi efulumizza amannya g'abantu Omusanvu, abaafiridde mu lyato bwe lyebbise mu Lake Kyoga. 

Poliisi efulumizza amannya g'abantu Omusanvu, abaafiridde mu lyato
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Poliisi efulumizza amannya g'abantu Omusanvu, abaafiridde mu lyato bwe lyebbise mu Lake Kyoga. 

Akabenje kano, kaabaddewo ku ssaawa nga ttaano ku Lwokuna ku makya , abantu 36 bwe baabadde ku lyato okumpi n'e kyalo Kiryanga mu muluka gw Kiryanga  mu Ggombolola ya Acii mu disitulikiti ye Amolatar nga bagenda okuziika. 

Eryato, lyabadde liva Muchora Abino, okugenda okuziika e Kiryianga , engine y'eryato n'etomera ekiti mu mazzi mu mita nga 400 okutuuka ku mwalo gw'e Kirianga. 

Abantu 7 baafudde ate abalala 29 ne bataasibwa era ng'abaafudde, kuliko Steven Odeke 65 ssentebe wa LC 1 e Muchora Abino A, Catherine Aguti 55 ow'e Okwalongen e Dokolo, ne Sylvia Abonyo 35 ow' Amuda e Soroti.

Abalala abafuddde, kuliko Jasper Ogwal 38 ow'e Corner Bileo Amolatar, Robina Ejang 30 w'e Alemere Bung cell, Semmy Agwech 20 okuva e Etam n'omusajja omulala atannategeerekeka, bimukwatako. 

Poliisi etegeezezza, emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika lya Amolatar Health centre 4 ng'okubuuliriza kugenda mu 

Tags: