Enteekateeka z'omwoleso gwa Bride&Groom ziri mu ggiya

ENTEEKATEEKA z'omwoleso gw'emikolo n'embaga ziri mu jjiya era nga wetwogerera, abagenda okwolesa bali mu kumaliriza okussaawo emidaala n'okugitimba.

Enteekateeka z'omwoleso gwa Bride&Groom ziri mu ggiya
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ENTEEKATEEKA z'omwoleso gw'emikolo n'embaga ziri mu jjiya era nga wetwogerera, abagenda okwolesa bali mu kumaliriza okussaawo emidaala n'okugitimba.

Abamu ku bagenda okwolesa, bakoowodde abantu okujja nga bukyali ku makya, okusobola okwegulira ku bintu n'okuliisa ku maaso.

Omwoleso guno oguwagiddwa bannaffe okuli aba Bella Wine, Pepsi , Looks Bespoke nga batunga ngoye z'abaami ez'omulembe n'abalala, gutandika nkya ku Lwokutaano gukomekkerezebwe ku Sunday nga 29.

Ebinonoggo bingi ebigenda okugubaamu, omuli abayimbi, okwolesa emisono, okukumba n'okumodolinga, bassenga ne bakojja okubuulirira abafumbo n'abo abatuuse okuwasa n'okufumbirwa.

Okuyingira shs . 10,000/ ate tiketi eyokwetaba mu kuwangula ebirabo, nayo ya shs 5000/ . Ebirabo bingi byakugabibwa n'olwekyo mukeereeko.

Abamu ku bagenda okwolesa , betusanze nga bali mu kutegeka emidaala gyabwe, bakowodde abantu okugenda mu bungi.