ENTEEKATEEKA z’okuwa Pulezidenti Museveni engule ng’omukulembeze eyasinga okulwanyisa ekirwadde kya Covid 19 mu nsi yonna ziwedde.
Engule eno Museveni egenda kumukwasibwa mu lukuhhaana ggaggadde oluli ku mutendera gw’ensi yonna nga lujjukira n’okwefumiitiriza ensi bye yayitamu bwe yalumbibwa ekirwadde kya Covid 19.
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Bannayuganda abali ebweru, Amb. Abbey Walusimbi ye yalangiridde bino bwe yabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire olwatudde ku Media Centre mu Kampala ku Lwokutaano. Yategeezezza nti mu ttabamiruka anaatuula okuva nga July 11 - 13, 2024 e Toronto, Canada, Museveni waakuweebwa engule eno okumusiima olw’okubeera emmunyeenye mu kulwanyisa ekirwadde kya Covid 19 mu Africa era naye waakwogerako eri ensi ng’ababuulira engeri Uganda gye yakola ebyalema amawanga okuli n’ag’Abazungu!
BANNAYUGANDA ABALALA ABAWEEREDDWA ENGULE
Minisita w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng, omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine, minisita wa ssaayansi Dr. Monica Musenero, omuwabuzi wa Pulezidenti ku by’amawulire Mary K. Okurut, Polof. Pontiano Kaleebu, Polof. Patrick Ogwang eyakola Covidex ne Dr. Emmanuel Katongole.
Mu balala mulimu ne bannamagye abaakola ekinene okulwanyisa Covid okuli: Lt. Col. Dr. Henry Kyobe ne Francis Okello eyakulemberamu ekkolero ly’amagye erya Luweero Industries okukola omukka gwa Oxygen ogwali gwetaagibwa ennyo abalwadde ba Covid.
Walusimbi yagambye nti ttiimu ya Uganda eneegenda okuweebwa emidaali gino yaakukulemberwa omumyuka wa Pulezidenti Jessica Alupo nga waakuwerekerwako baminisita ab’enjawulo n’ebikonge ebirala kwe kuyita Bannayuganda bonna abali e Canada okubeegattako nga Uganda ejaguza obuwanguzi buno.
Covid-19, yatirimbula abantu abaasoba mu 6,860,000 nga mu Uganda mwokka mwafaamu abasukka mu 3,000.