MAAMA n’abooluganda lw’omugenzi Henry Kiyega eyakubibwa amasasi e Kansanga mu January wa 2025 baddukidde mu ofiisi ya ‘town clerk’ e Makindye ku by’okulonda abaddukanya emaali y’omugenzi gye bagamba etaddukanyizibwa bulungi.
Abooluganda balumiriza looya David Omaset okuva mu Namanya, Kafureeka & Co Advocates okwekobaana n’omukyala Diana Nassunga ne batakkiriza kugenda mu nsisinkano zonna ze babayita ewa town clerk e Makindye okusobola okwogera ku nsonga z’omugenzi.
Bano baakizuula nti waliwo empapula era ezitambula mu bukyamu okuyita mu ofiisi ezenjawulo nga basaba baweebwe 'Letters of Administration' okuddukanya eby’obugagga by’omugenzi mu ngeri enkyamu ate nga tebakimanyako.
Omugenzi Henry Kiyega
Mu kiseera kino bagamba omugenzi nga tannafa ye yali omusika waabwe era nga y'alabiririra ne mukadde mu kiseera kino ekitakyasoboka.
Maama Alice Naluyima agamba mu kiseera kino ayita mu bulumi nga n’obujjanjabi takyabufuna kubanga eyali abimutusaako yafa ate amakubo agaali gamuyamba okufuna ku ssente okwejjanjaba gaazibikirwa nga takyalabirirwa bulungi nga bwe kyali.
Maama w'omugenzi
Richard Mukasa muganda w’omugenzi agamba nti mu kiseera kino Nnamwandu n’abaana bayitiddwa enfunda okugenda mu ofiisi ya tawuni kiraaka ne bagaana okugenda okwogera ku nsonga zino nga kati baakuzzaako ekirala balabe ng'ensonga ziggwa nga bwe ziteekeddwa okuba.
Kiyega yali alabirira maama we n’abeng'anda ze naye nga kati mu kiseera kino abaali bamuganyulwamu ng’omusika bagamba basanga okunyigirizibwa okwamaanyi olw’obutali bulambulukufu obuli mu kuddukanya ebintu by’omugenzi okuva lwe yafa.
Looya Omaset agamba ensonga zonna bazitambuliza mu mateeka nga mu kiseera kino abaana abalina okuganyulwa basaba maama waabwe nnamwandu w’omugenzi y'abeera addukanya ebintu nga bwe balinda empapula okuva ewa Administrator General ku ani anaddukanya emmaali y’omugenzi.
Richard Mukasa waaluganda
Agamba baali baweereza omukadde ssente okutuusa omu ku b’oluganda lwe yabasaba okulekerawo baleke ebintu omugenzi bye yaleka e Namyooya bye babeera baggyamu ssente ezirabirira omukadde.
Henry Kiyega eyali nnannyini ssomero lya Grace Primary School e Kansanga nga yafa alina eby'obugagga mu Kansanga n’e Namyooyo e Mukono yakubibwa amasasi omuserikale wa Securiko ya Maestro Nathan Ariyo ku bigambibwa nti yali amubanja ssente ze yakolera ku nnyumba z’omugenzi n'atazimuwa n'amukuba amasasi agamutta