Amawulire

ENNAMBA Z’EBIDDUKA EZA DIGITO;Tutereeze ebisobye, tukuume ebituukiddwaako

PULOJEKITI y’ennamba z’ebidduka eza Digito ewezezza wiiki eziwera nga Palamenti yeekenneenya engeri gy’ekolamu, ssente ezaakagiteekebwamu, obusobozi bwa kkampuni n’engeri gy’ekwatagana n’ebyokwerinda.Okunoonyereza kutuufu, kuba Palamenti erina obuvunaanyizibwa okulondoola ssente eziba ziweereddwa Gavumenti ne bakontulakita okukola omulimu obulungi.

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ka Physical infrastructure nga balambula ezimu ku nnamba puleeti ku kitebe kya poliisi e Naggulu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULOJEKITI y’ennamba z’ebidduka eza Digito ewezezza wiiki eziwera nga Palamenti yeekenneenya engeri gy’ekolamu, ssente ezaakagiteekebwamu, obusobozi bwa kkampuni n’engeri gy’ekwatagana n’ebyokwerinda.Okunoonyereza kutuufu, kuba Palamenti erina obuvunaanyizibwa okulondoola ssente eziba ziweereddwa Gavumenti ne bakontulakita okukola omulimu obulungi.
Wabula ebizze bivaayo biraze obujulizi ku busobozi bw’enkola eyaleetebwa okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga.
Minisitule y’ebyentambula n’emirimu yategeezezza Palamenti nti obudde bw’okufuna ennamba ya digito mu Kampala bwakendeera okuva ku nnaku 19 mu December wa 2025 okutuuka ku nnaku bbiri mu September wa 2026. Poliisi era egamba nti ku mmotoka 375 ezabbibwa, ze baalondodde ne bakwata ziri 337 ekiraga nti omulimu baagutuukirizza n’ebitundu 90 ku 100.
Nga October 2, ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyenguudo aka ‘Physical Infrastructure’ baakyalirako ekifo we balondoolera kkamera enkessi e Naguru ekya Police Command Centre okulaba engeri emirimu gye gikolebwa. Ng’oggyeeko okubalaga ebikolebwa, ababaka era baaleeta mmotoka eziriko ennamba za digito ne basaba poliisi okubabuulira we ziri.
Ebyuma ebikessi, byalaga mmotoka we zaali ziri mu kiseera kyo era ababaka abaakulemberwa ssentebe Mwine Mpaka bakkirizza nti ddala ebyuma bikola. “Tukakasizza nti piki n’emmotoka birondoolwa. Ennamba za digito tuzeetaaga nnyo era kye tulina okukola kwe kulaga engeri gye twongera okuwagira enkola eno” Mpaka bwe yategeeza. Kyokka ekibuuzo ekyasigala mu bbanga, ze ssente n’enkola yonna gy’ezze eteekebwa mu nkola era Palamenti gwe mulimu gw’eriko.
Omuduumizi wa poliisi, Abas Byakagaba naye yawolerezza enkola n’agamba nti ebanguyizza nnyo omulimu gw’okunoonyereza ku bumenyi bw’amateeka. Pulezidenti Museveni gye buvuddeko, yagamba nti ekyamuleesa ennamba za digito kwe kwongera okunyweza ebyokwerinda n’okwanguyiza abanoonyereza ku bumenyi bw’amateeka. N’okwekyo ennamba za digito zirimu ekifaananyi ekigazi eky’okulaba ng’abamenyi b’amateeka balondoolwa mu bwangu n’abantu abakozesa ennamba ezitali zaabwe ne bazza emisango.
Poliisi egamba esobodde okuzuula mmotoka nnyingi ezaali zibbiddwa ng’eyita mu nkola eno.
Kyokka obuzibu bukyali nnyo mu kuzuula piki eziba zibbiddwa. Ekibuuzo tekiri ku kya kubeera nga pulojeti erimu ebitatuukiridde, ekikulu kya kulaba engeri ebizibu ebyo gye bisobola okugonjoolwa ng’ebyokwerinda tebikoseddwa nga bwe kyagendererwa.
EBBEEYI Y’ENNAMBA

Okukubagana empawa okuliwo kutambulira ku muwendo gwa 714,300/-, ogusalibwa omuntu okufuna enamba.
Ekyebuuzibwa gwe muwendo ogusaanidde okusinziira ku sente ezikozesebwa mu kukola n’okuddukanya pulojekiti yonna.
Palamenti bwe yabadde ebuuliriza, baatemyetemye ssente eziggweera mu kukola ennamba emu nga ziwera 630,000/-, nga kusigalawo enjawulo ya 80,000/- eri wakati wa ssente ezikozesebwa n’ezisabibwa.
Ekyuma ekirondoola kitwala 350,000/-, two Bluetooth Low Energy (BLE) beacons za 130,000/-, ate ennamba zennyini za 74,000/-. Ssente z’obukozi, ebyuma, ebyeyambisibwa, emisolo n’ebyetaago birala byonna bw’obigatta, kizuula ng’ennamba yennyini okugikola kitwala ebitundu nga 12 ku 100 ebya ssente zonna ezisasulwa.
Kyokka omuwendo gwetaaga okwekenneenya ennyo kireme kutwalibwa lumu nti ssente
ezaawukana ku z’obukozi gemagoba omukozi gaafuna kuba waliwo emisoso emirala gy’alina okutuukiriza.
Okunoonyereza okugazi kulina okulaga obungi bwa ssente ezikozesebwa mu pulojekiti yonna, engeri omuwendo gye gwasalibwawo n’okukakasa ng’enkola yennyini etuukana n’omuwendo gwa ssente.

KISUKKA KU NNAMBA

Pulojekiti y’ennamba ya digito tekoma ku kya kukola n’okuwandiisa ennamba kyokka.
Wabula kitundu ku nkola y’okulondoola n’okumanya ebidduka byonna ne bisobola okugobererwa ebitongole ebikwasisa amateeka, nga asobola okubituukako nga kyetaagisizza.
Enkola erimu tekinologiya akwata n’okutereka, okukozesa abakozi nga byonna biteekebwa mu kifo ekitegekeddwa obulungi.
Ng’oggyeeko ebyokwerinda, pulojekiti ewadde bannansi emirimu, okugaziya ennyingiza
y’omusolo gwa Gavumenti n’okuwagira abalina amakolero mu ggwanga. Pulojekiti eno bukya etandika mu 2023, yaakasasula musolo ogusukka obuwumbi 48. Bannayuganda abasukka 300 balina emirimu mu kitongole n’abalala abakifunamu mu ngeri ez’enjawulo.
Ebintu ebyo byonna byetaaga okutunuulira naye nga tetwerabidde ssente nnannyini kidduka z’akozesa, ebikwata ku kontulakiti awamu n’omulimu gw’ekikoleddwa.
EBYOKUYIGA KU KAMPUNI YA SGS
Uganda yali esanzeeko obuzibu bw’ekika kino emabega. Mu 2015, Gavumenti yawa kkampuni ya Swiss Company eya SGS y’okulondoola buli kidduka ekitali mu mbeera nnungi n’okutumbula ebyentambula ku nguudo.
Palamenti yayimiriza enkola mu 2017 ne balagira wabeewo okunoonyereza ku kontulakiti eyali egabiddwa.
Ekyaddirira zaali nkaayana Gavumenti bwe yali tennaba kusazaamu nkola yonna. Ebyavaamu tebyali birungi anti Gavumenti oluvannyuma yaliyirira kampuni ya SGS ssente eziwera obuwumbi 109.857 mu kugiriyirira olw’okufiirizibwa kwe yafuna n’okweddiza ebifo byayo musanvu bye yali eddukanyizaamu emirimu. Kyokka okusazaamu kontulakiti kyali tekiggyawo bwetaavu bwa nkola kuba Uganda yali yeetaaga okulondoola ebidduka byonna n’okukakasa nga biri mu mbeera nnungi. Ebya kkampuni ya SGS kyakuyiga kinene eri abakola amateeka ku ky’obutamala gasazaamu pulojekiti mu bwangu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: