Amawulire

Eyabba essimu ya kasitooma omulamuzi amulagidde asasule emitwalo 50 oba okusibwa emyaka 2!

Isabella Atuhire eyabba essimu ya kaasitooma we eyali amuguze okumusanyusa mu loogi, omulamuzi amulagidde asasule engassi ya mitwalo 50  bwe zimulema bamusalire emyaka 2 mu kkomera!

Eyabba essimu ya kasitooma omulamuzi amulagidde asasule emitwalo 50 oba okusibwa emyaka 2!
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Isabella Atuhire eyabba essimu ya kaasitooma we eyali amuguze okumusanyusa mu loogi, omulamuzi amulagidde asasule engassi ya mitwalo 50  bwe zimulema bamusalire emyaka 2 mu kkomera!

Atuhire gwe baasibye

Atuhire gwe baasibye

Atuhire yakkiriza okubba essimu ekika kya iPhone 12  eyali ebalirirwamu obukadde 6 eyali eya Nduka Chebueze eyali amuguze beesanyuseemu kyokka n’akalambira nti Chebueze yamukasukira 2,000/-  zokka bwe yamusaba okwambala akapiira ka kalimpitawa n’agaana, naye kwe kukwatibwa obusungu.

 Omulamuzi Nicholas Aisu agambye bwe zimulema bamusibe emyaka ebiri.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Atuhire
Ssimu
Kaasitoma
Kubba