Abali ku gw’okutta eyali omuzannyi wa Rugby Sydney Gongodyo Gyabi bazziddwa mu kkomera ng’oludda oluwaabi bwe lumaliriza okunoonyereza n’okukung’aanya obujulizi.

Omugenzi Gongondyo Bwe Yali Afaanana
Bano okuli Obed Mugwisa omuvuzi wa boda boda, Elly Mondoni, Joseph Owino, Henry Kabugo, Jethro Rugaba n'omuwala Monica Athieno babadde bakomezeddwawo mu kkooti ya City Hall omulamuzi n’alagira bagira bazzibwa mu kkomera okutuusa nga November 4, 2026 lwe banazzibwa mu kkooti.
Babadde mu maaso g'omulamuzi Edgar Karakire n'abategeeza nti omuwaabi wa gavumenti taliiwo naye okunoonyereza bwe kunaaba kuwedde bajja kusindikibwa mu kkooti Enkulu batandike okwewozaako.
Omulamuzi era abajjukizza nti baddembe okusaba okweyimiririrwa mu kkooti Enkulu bwe baba baagadde.

Abali ku gw'okukuba Gongondyo
Abawawaabirwa bavunaanibwa gwa butemu ng'oludda oluwaabi lugamba nti bano nga June 5, 2026 mu Upper Naguru East Road e Nakawa mu Kampala n'ekigendererwa ssaako ettima batta Gongodyo Sydney.
Okusinziira ku butambi obwatambula ku mutimbagano ng’abasajja bano bakuba Gongodyo okutuuka okumutta ng'eno omuwala eyali akwata bw’awaga ng'amulumiriza obubbi.