RDC we Nansana Charles Lwanga alagidde Poliisi ye Matugga okukwata abagambibwa okumenya ennyumba ya Nkubakyeeyo Moses Ssempebwa era bano bakwatiddwa ne bateekebwa ku kabangali ne batwalibwa ku Poliisi ye Matugga.

Abamu ku bakwatiddwa ku biragiro bya RDC
Abakwatidwa kuliko Sentebe wa LC II Nakukuba-Ssanga Amans Bukenya Salongo 47,Isaac Galiwango 77,Nathan Musisi 67,Aidah Nansubuga 57, naye Horeb Male talabiseeko nga bwakitegedde nti bagenda bakwata n'amalamu omusubi.
Bano bagezezzaako okwennyonnyolako naye tekibayambye era Muzeeyi Galiwango Isaac ategeezezza nga ye bweyakuumanga matiriyo wa Ssempebwa era bwati bwanyonyodde.

Omu ku bakwatiddwa kubiragiro bya RDC
Ate ye Sentebe Bukenya Amans akkirizza okwogerako ne Ssempebwa nga abantu b'omulubigi bwebamenyebwa era kino teyeeyibala nawo wakumenyebwa.
Wano RDC Lwanga wasinzidde n'ategezza nga bwavumirira ekikolwa kino kubanga nabo tebakirizibwa kumenya nyumba yamuntu yeno nga talina Kooti Order era nalagira abantu bano okukwatibwa.
Wano Nkubakyeeyo Ssempebwa Moses nga bwekimuyambye kubanga abantu abo bamukoera endagano nemikono gyabwe nebajjiteekako.