Amawulire

Ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula addusiddwa mu ddwaaliro ng'embeera mbi

Ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula addusiddwa mu ddwaaliro ng'embeera mbi oluvannyuma lw'okuddamu okufuna obulumi obw'amaanyi oluvannyuma lw'okulongoosebwa omugongo n'amagulu gyebuvuddeko.

Majembere ng'ali mu ddwaliro ku byuma
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

Ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula addusiddwa mu ddwaaliro ng'embeera mbi oluvannyuma lw'okuddamu okufuna obulumi obw'amaanyi oluvannyuma lw'okulongoosebwa omugongo n'amagulu gyebuvuddeko.

Mu kiseera kino Majambere ali ku byuma ebimuyambako okussa olw'okufuna okukaluubirizibwa mu kussa ekitadde aba famire ye mu kutya.

Bakyala ba Majambere abana nga bakulembeddwaamu Miria Majambere bagamba nti, embeera gyebalimu nzibu, kuba bbaabwe Majambere yaabadde akola nga yabalabirira mu by'okulya  n'abaana baabwe abawera 28 Majambere balina ate  nga bonna basoma betaaga obuyambi bw'ebisale by'essomero ne byetaago ebirala ng'okulya,  ate nga n'eddwaaliro lyetaaga ssente mpitirivu.

Majembere ng'ali mu ddwaliro ku byuma

Majembere ng'ali mu ddwaliro ku byuma

Agamba nti, Majambere yalongoosebwa omugongo  n'okugulu mu June w'omwaka guno mu ggwanga lya Turkey gyeyamala omwezi mulamba ng'ajjanjabwa, oluvannyuma ne bakomawo kuno ku nkomerero ya July omwaka guno ng'embeera etereddemu.

Ono agamba okuva lwebaakomawo kati emyezi ebiri n'ekitundu, Majambere teyaddamu kubeera kye kimu era abaddenga tasobola kutambula, atambulira mu kagaali k'abalema kuba obulumi bubadde bukyali bungi.

Naye wiiki ewedde yazzeemu okutabuka ne bamuddusa mu ddwaaliro erimu wano mu Kampala gyebaamutadde ku byuma ebimuyambako okussa.

Ono agamba okusinziira ku mbeera gyalimu yeetaaga okuzzibwayo e Turkey gyebamulongooseza bongere okumwekenneenya nti naye ssente tebalina nga nezirabirira ewakaawe n'okuweerera abaana mu kiseera kino kifuuse kizibu.

Majembere ng'ali mu ddwaliro ku byuma

Majembere ng'ali mu ddwaliro ku byuma

Bwatyo alajaanidde ssentebe w'ekibiina Kya NRM mu ggwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo abakwasizeeko ku bujjanjabi bw'omwana w'omulwanyi we.

Nakowoola Gen Salim Saleh, state house Controller Jane Barekye, Ssenga w'abaana Gen Proscovia Nalweyiso okuvaayo okubayambako Majambere asobole okujjanjabwa atereere.

N'abakulembeze ba NRM e Lubaga nga bakulembeddwa Richard Masaba Akulira eby'amawulire mu NRM e Lubaga nabo bawanjagidde abakulembeze b'ekibiina kya NRM mu ggwanga naddala ssentebe waabwe pulezidenti Museveni ne Gen. Salim Saleh  okubayambako ku bujjanjabi bwa Ssentebe waabwe  Ivan Majambere gwagambye nti, naye mwana weeyali omulwanyi omugenzi Majambere eyalwana  okununula eggwanga lino.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: