ENKUBA ebaddemu kibuyaga n'omuzira erese ebirime n'amayumba agasoba mu 100 ku ttaka ekitadde abatuuze e Kalungu mu kusoberwa kye bazzaako.
Eggombolola bbiri eya Kyamuliibwa Town Council ne Rural ze zaakubiddwa obubi ennyo era embeera eno eyabaddewo mu budde bw'ekiro yatwaliddemu n'amasinzizo n'okulumya abamu ku batuuze abaakubiddwa ebifunfugu n'amatofaali g'ennyumba zaabwe mwe baasangiddwa nga beebase ng'abamu kati batambulira ku miggo.
Emiti gy'amasannyalaze nagyo gyagudde mu bitundu ebimu era waya zaasigadde ku ttaka era mu kiseera kino ab'ekitongole kya UMEME bakola butaweera okuzizzaayo n'okusimba emiti emipya okutaasa abatuuze ku bulabe obulala.

Engeri Agamu Ku Mayumba Gye Gasigaddemu
Abakulembeze mu kitundu kino abakulembeddwa omubaka wa Palamenti owa Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungu,Ssentebe wa Disitulikiti Ahmed Nyombi Mukiibi, RDC Dr. Paddy Kayondo n'abalala balambudde ebyalo ebikoseddwa ennyo wakati mu kusala entotto ku butya bwe bagenda okuyamba abatuuze abawerako abataasigazza mmere na wakusula.
Ssentebe Mukiibi yategeezezza nti ebyalo ebyasinze okukosebwa kuliko Kigasa, Kyakibuta, Kasaka, Kambulala, Lugasa, Misenyi, Kalama, Kyamuliibwa B, n'ebirala n'asaba bekikwatako okwanguyiriza ku ntekateeka y'obuyambi kubanga abatuuze embeera gye bayitamu kati nzibu nnyo.

Omubaka Ssewungu Ku Ddyo Naba Ffamire Abaasimattuse Okukubwa Ennyumba
Venerable Christopher Wasswa Kafeero, atwala obusumba bw'e Kabungo mu kkanisa ya Uganda yategeezezza nti y'omu ku baakoseddwa olw'ekkanisa ebbiri ku kkumi ezisangibwa mu kitundu kye okukubibwa wamu n'ennyumba z'abaawule be ne zisigala ku ttaka nga ku zino kuliko n'ekkanisa ebadde empya eya Kasaka Church of Uganda gye babadde tebanaggulawo.
Omubaka Ssewungu yategeezezza nti obwetaavu obuliwo okusinga bwa kuyambako batuuze mu kubafunira amabaati ne seminti bazzeewo amayumba gaabwe,wabula yalabudde ku bikolwa by'okutema emiti nti egyakwatanga kibuyaga nti kye kimu ku bivuddeko embeera eno.
RDC w'e Kalungu Dr. Kayondo naye yakubye omulanga eri abazirakisa ssekinoomu okusitukiramu nti bagira bawaayo obuyambi obw'enjawulo kubanga ebya Gavumenti bigenda kitwalamu obudde nga babalirira obungi bw'obuyambi obugenda okwetaagisa.